Patrick Mukisa Nkugwa ng’ono kansala w’e Manyangwa ate nga ye sipiika wa Kasangati town council amezze banne bwe babadde mu lwokaano lw’okuvuganya kw’ani akulira Basipiika abeegattira mu kibiina kyabwe ekya Central Region Urban Council Speaker's Association nga okuvuganya okwamaanyi kubadde wakati we sipiika wa Goma division e Mukono, Tonny Bwanika.
Gye buvuddeko Basipiika ba tawuni kanso ez’enjawulo bavaayo ne beekolamu ebibiina ebibagatta mu masekatti ga Uganda omuli; Greater Masaka, Greater Luweero, Greater Mukono, Greater Wakiso-Kampala, Greater Mubende.