Amawulire

Omuwendo omutono ogw’abasomesa abantu abaliko obulemu gukaluubiriza emirimu

OMUWENDO omutono ogw’abasomesa abalina obulemu ku bwongo ne ku mibiri bukaluubiza emirimu mu maka agalabirira abaana ab’ekikula ekyo.

Abamu ku baana abaliko obulemu mu maka ga Doreah Uganda Children’s Home nga basala kkeeki n'abamu bamemba ba Lions Club of Kampala Victoria Luzira. Mu ssaati enjeru ye Robert Munanula.
By: Edward Luyimbaazi, Journalist @New Vision

Bya Edward Luyimbaazi

OMUWENDO omutono ogw’abasomesa abalina obulemu ku bwongo ne ku mibiri bukaluubiza emirimu mu maka agalabirira abaana ab’ekikula ekyo.

Bano baagala gavumenti eyongere okuwagira amatendekero agatendeka abasomesa abo wamu n’okwongera okudduukirira amaka ago.

Okuwanjaga kuno kukoleddwa Doreen Namara, akulira amaka Doreah Uganda Children’s Home e Nansana, aba Lions Club of Kampala Victoria Luzira bwe baabadde babadduukiridde .

Namara agambye nti amaka agalabirira abaana abalina obukosefu ku mibiri ne ku bwongo geetaaga abasomesa abalina obukugu naye ng’ate bano batono nnyo mu ggwanga.

Dr. Emmanuel Kisaame (wakati) Pulezidenti Wa Lions Club Of Kampala Victoria Luzira Ng’ Agabira Ebyokulya Eri Abaana Bano.

Dr. Emmanuel Kisaame (wakati) Pulezidenti Wa Lions Club Of Kampala Victoria Luzira Ng’ Agabira Ebyokulya Eri Abaana Bano.

Noolwekyo kyetaagisa gavumenti okwongera okuwagira okutendeka abasomesa wamu n’okubayamba okubasasulira omusaala gwabwe kubanga munene.

 Ayongedde n’ategeeza nti n’okulabirira amaka gano mu byokulya, okubajjanjaba n’okubatambuza nakwo kubakubaluubiriza ate ng’omuwendo gw’abaana bano gweyongera buli kiseera olw’abazadde abasuulirira obuvunaanyizibwa bw’abaana bano. Bw’atyo n’asaba gavumenti, ebitongole oba omuntu yenna alina omutima omugabi okubadduukirira n’ebyokukozesa ng’aba Lions Club webakoze.

Dr. Emmanuel Kisaame Pulezidenti wa Lions Club of Kampala Victoria Luzira agambye nti basazeewo okudduukirira amaka gano kubanga balina okusoomozebwa mu kulabirira amaka gano naddala ebyokulya n’ensula.

 Akunze buli muntu yenna asobola okuyamba ayambe amaka gonna agalabirira abaana bano oba gavumenti okubadduukirira kubanga bakizudde ng’abamu tebalina ddagala libajjanjaba.

Dr. Kisaame avumiridde abazadde abasuula n’abakweka abaana bano.

Tags:
omuwendo
abasomesa
abaliko obulemu