Amawulire

Abasomye bakubiriziddwa okwogera ku nsonga eziruma eggwanga

MINISITA omubeezi ow’esonga z’ettaka mu ggwanga Dr. Sam Mayanja asabye abantu abasomyeko bulijjo okuvaayo okwogera ku nsonga eziruma eggwanga nga bwe batakikola bajjakuba balidde mu nsi yaabwe olukwe.

Rotery
By: Ssuuna Peter, Journalist @New Vision

MINISITA omubeezi ow’esonga z’ettaka mu ggwanga Dr. Sam Mayanja asabye abantu abasomyeko bulijjo okuvaayo okwogera ku nsonga eziruma eggwanga nga bwe batakikola bajjakuba balidde mu nsi yaabwe olukwe.

Yategeezezza nti ekisinze okutta n’okusaanyawo eggwanga be bantu ab’ekika kino okusirika kyokka n’abakukkulumira nti kati ki ekyabatwala mu ssomero okuleka ensi okusaanawo n’ajuliza nti ‘ensi tefa lwa bantu babi wabula abo abagezi abefuula kyesirikidde’. Yabadde abyesigamya ku bantu ababba ettaka lya nabannabwe kyokka abalina okubyogerako ne batavaamu kigambo kyonna.

Mayanja yabyogeredde Bugoloobi ku mukolo gwe yabadde omugenyi omukulu ng’ettabi lya Lotale ya Lions Club of Kampala lijaguza okuweza emyaka 29 nga bayamba ku Bannayuganda abatalina mwesirizi.

Yatenderezza emirimu egikolebwa ebibiina bya Lotale mu ggwanga ebivaayo okudduukirira bannansi n’omutima gw’obwannakyewa nga tabasasulwa kyokka emirimu gyabwe ne bagikola mu budde.

Rotary

Rotary

Yasinzidde wano n’agugumbula abakozi ba Gavumenti abasasulwa mu budde ate bwe babawa okukola Pulojekiti ez’enjawulo ne balwawo ate oluusi ne batakola n’okubba ssente z’omuwi w’omusolo ekireetera okufiiriza eggwanga.

Pulezidenti w’ekibiina kino Julius Tumuhimbise yategeezezza nti, nga bajaguza okuweza emyaka 29 egy’obuweereza, baakugenda mu maaso nga beesigama ku mpagi ezaabatandisaawo okuli ogw’okuyamba ku bantu abalumwa enjala, endwadde, okusimba emiti n’ekigendererwa ky’okukuuma obutonde bw’ensi n’okubangula abavubuka mu bukulembeze obw’enjawulo era n’asaba abantu okujjumbira okwegatta ku Lotale.

Ku mukolo guno kwabaddeko n’okuyingiza abantu abasoba mu 20 mu kibiina kino era ne bakuutirwa Gavana waabwe Dr. Stanely Bubikir okubeera ku miramwa gya Lotale egy’okuyamba abatalina mwasirizi

Tags: