Amawulire

Abawala bakubidde waggulu abalenzi mu bya UBTEB ebifulumye leero

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kubaga n’okugolola ebigezo by’emikono ekya Uganda Business and Technical Examination Board (UBTEB) kifulumizza ebigezo by’omwaka 2023

Abawala bakubidde waggulu abalenzi mu bya UBTEB ebifulumye leero
By: Majorine Sharon Nabasirye ne Viviene Nakitende, Journalists @New Vision

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kubaga n’okugolola ebigezo by’emikono ekya Uganda Business and Technical Examination Board (UBTEB) kifulumizza ebigezo by’omwaka 2023, abawala ne basukkuluma ku balenzi omwaka guno okukola obulungi.

Omukolo gw’okufulumya ebigezo gubadde ku Uganda Institute of Information and communications Technology e Nakawa. 

Minisita Kaducu (wakati) N'abalala Mu Kufulumya Ebyavudde Mu Bigezo.

Minisita Kaducu (wakati) N'abalala Mu Kufulumya Ebyavudde Mu Bigezo.

Minisita w’ebyenjigiriza ebisookerwako, Joyce Moriku Kaducu ye yabadde omugenyi omukulu era ye yakiikiridde Minister Janet Kataha Museveni.

Mu bigezo bino ebifulumiziddwa, abayizi 23,971 be beewandiisa okukola ebibuuzo wabula abayizi 21,179  (ebitundu 88 ku 100) be baasobola okutuula ebigezo ku ddaala lya satifikeeti ne dipulooma  nga ku bo , kwaliko abawala 6,593 (ebitundu 31 ku 100) n’abalenzi 14,586  ate abayizi 2,792 (ebitundu 12 ku 100) tebaasobola kukola bigezo.

Mu byavudde mu bigezo , abayizi abawala baakoze okusinga ku balenzi. Minisita Kaducu bwe yabadde asoma obubaka bwa minisita Janet Kataha Museveni yategeezezza nga bwe bagenda okukola obutaweera okulaba nga abaana abawala beeyongera okwettanira ennyo amasomo g’ebyemikono.

 

Yagambye nti okutuukiriza kino, bassaawo sikaala eri abawala mu matendekero ag’enjawulo zibasobozese okujjumbira eby’emikono.

Kaducu alabudde abasomesa abakyebuzaabuza ku mirimu nti kye bakola kikyamu era bafiiriza eggwanga n’asaba abatuula ku kakiiko akafuzi mu matendekero okussa eriiso ejjogi eri abo abeebulankanya ku mirimu.

Dr Paul Giju, avunaanyizibwa ku byensoma ku yunivaasite ya ISBAT (Academic Registra) yagambye nti nabo balina amasomo g’eby'emikono ku mutendera gwa diploma era baakwatagana ne UBTEB okugezesa abayizi baabwe, kubanga amabaluwa ga UBTEB gali ku mutendera gwa nsi yonna.

Yasiimye minisitule okuteeka amaanyi mu masomo g’eby'emikono ge yagambye nti gaakuyamba nnyo okumalawo ebbula ly'emirimu n'okutumbula obuyiiya mu bantu. Oluvannyuma minisita asazizzaamu ebigezo by’abayizi abeenyigira mu kubba ebigezo.

Tags:
UBTEB
Ebyemikono
Nakawa
Bigezo
Minisita Janet Kataha Museveni
Bawala
Balenzi