Amawulire

Abakyala abawangaalira mu ghetto ze Naguru babanaazizzaako ennaku

ABAKYALA  75 abawangaalira mu ghetto ya Naguru Godown bafunye akaseko abazirakisa bwe babagabidde kkiro 375 ez’obuwunga. 

Abakyala abawangaalira mu ghetto e Naguru nga bakutte obusawo bw'emmere obubaweereddwa aba Lotale
By: Ritah Mukasa, Journalist @New Vision

ABAKYALA  75 abawangaalira mu ghetto ya Naguru Godown bafunye akaseko abazirakisa bwe babagabidde kkiro 375 ez’obuwunga.

Abakyala bano abasinga batembeeyi b’omu Kampala. Abasajja baabasuulawo ne babalekera obuvunaanyizibwa bw’okulabirira abaana ng’abamu balina abaana abasukka mu mukaaga kyokka ng’embeera mwe bali yennyamiza

Batembeeya amenvu, ebibala n’enva endiirwa kyokka ssente ze bafissaawo tezibamala kupangisa nju, okuliisa abaana, okubajjanjaba n’okubasomesa.

Ebyo bye baabagudde aba Lions club of Kampala East okubadduukirira era buli mukyala yafunye kkiro ttaano ez’obuwunga ku Lwomukaaga nga September 21, 2024 ku mukolo ogwabadde ku Mara skilling center mu Naguru Go down.

Aba lotale nga bagaba ebikozesebwa

Aba lotale nga bagaba ebikozesebwa

Betty Atim, omukulembeze w’abakyala mu kitundu kino agamba nti kkiro ttaano ziyinza okuwulikika ng’entono naye nnyingi nnyo ku bakyala abo kubanga ebiseera bingi balemererwa okufunira abaana baabwe ekyokulya.

Ng’oggyeeko okubeera ne kapito omutono, abamu abakwasisa amateeka mu Kitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA) babayoola ne batwala emmaali yaabwe. Atim yeebazizza aba Lions club olw’omutima omugabi.

Hildah Mugenyi akulira ekibiina kino yeebazizza abakyala okubeera abakakaalukanyi n’abasaba okwongera okuweerera abaana nga bwe balabirira n’obutonde bwensi.

Mugenyi yababuulidde ebifa ku kibiina kyabwe nti kikungaanya abantu abeenyumiriza mu kuyamba abali mu bwetaavu.

“Tetuyamba kubanga tuli bagagga. Nedda. Tuyamba kubanga tuwulira bulungi nga buli muntu ali bulungi,” bwe yagambye n’agattako nti ssente abantu ze boonoonera mu kwejalabya bayinza okuzikozesa okuyamba abali mu bwetaavu olwo ebitundu mwe bawangaalira ne bibeera bitebenkevu kubanga buli muntu abeera bulungi.

Oluvannyuma, aba Lions club baagenze ku ssomero lya Creative infant school ne bagabira abayizi sabbuuni, ebitabo, ekkalaamu, bbayiro, sseeti ne ppaadi. Baasoose kubawa kyamisana, okubabuulirira n’okubayigiriza okusoma nga bakozesa obutabo bwa TOTO magazine obufulumira mu lupapula lwa New Vision buli Lwakusatu. Vision group yawaddeyo obutabo 100.

Tags: