Abayizi abasoba mu 60 baabugaanye essanyu bwe bafunye obutabo bwa TOTO magazine nga buno bufulumira mu lupapula lwa New Vision buli Lwakusatu.
Abasinga guno gwe gubadde omulundi gwabwe ogusoose okukwata ku katabo kano. Basomye ebigambo mu Lungereza nga bwe bakuba n’okusiiga ebifaananyi.

Abaana ba Ghetto nga bali n'aba Lions Club
Obutabo bwaweereddwaayo Vision Group nga bali wamu ne Lions club of Kampala East abali mu kaweefube w’okumalawo obutasoma mu baana.
Omukulu w’essomero Moses Tukei, yeebazizza aba Lions club olw’omutima omugabi n’agamba nti abayizi baabwe abasinga bava mu maka maavu ng’ebiseera bingi basula njala olw’abazadde baabwe okubulwa ekyokulya. Yayongeddeko nti era bangi bajja ku ssomero nga tebalina yadde ebitabo.
Sharon Munanura akulira Lions new voices yabuuliridde abayizi okubeera n’empisa, okuwa abantu ekitiibwa n’okwewala emikwano egiyinza okuboonoona ne balemwa okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe.
Lions club kitongole kya nsi yonna ekigatta abantu abeenyumiriza mu kuyamba abali mu bwetaavu.
Mu Uganda mulimu kiraabu 54 ng’eya Kampala East ekulirwa Hildah Mugenyi. Agamba nti essira baliteeka nnyo ku kulwanyisa enjala, obulwadde bwa sukaali, kkansa mu baana n’okukuuma obutonde bw’ensi. Era bafa nnyo ne ku maaso, okukulaakulanya abavubuka n’okumalawo obutasoma mu baana.