PULEZIDENTI Yoweri Museveni alangiridde nti olwaleero nga April 15, 2025 atandise okutalaaga ekitundu kya Greater Mubende ng'alambula pulojekiti ya Gavumenti eya Parish Development Model (PDM), w'etuuse.
Kino Museveni akiyisizza ku mukutu gwe ogwa X (ogwayitibwanga Twitter), ng'okulambula kuno kwa kugoberera okwo okuzze kubaawo mu bitundu bya Uganda ebirala omuli: Acholi, Busoga, Bukedi, ne Lango.
Gavumenti ng'etongozza enkola eno mu 2022, yategeeza nti ekigendererwa kyayo kya kusindika ssente butereevu ku miruka okusitula ebyenfuna mu maka nga bakola ebintu ebivaamu ssente.