GAVUMENTI ne kontulakita agenda okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka eya Standard Gauge Railway (SGR) bagamba nti kkampuni za bannansi zirina omukisa gw’okwenyigira mu mulimu gw’okuzimba oluguudo lw’eggaali luno olwa Malaba - Kampala.
Kkampuni za Bannayuganda zirina emirimu mingi gye zigenda okukola okuviira ddala ku kuwaayo ebikozesebwa nga seminti, ebyuma bya sitiiru, yinsuwa n’ebirala bye basobola okwenyigiramu. Enteegeragana eyakolebwa wakati wa minisitule y’ebyenguudo ne SGR, ebintu ebikozesebwa mu kuzimba ebitundu 40 ku 100, birina kuva mu Uganda.
ENGERI KKAMPUNI ZA
UGANDA GYE ZEETEGESE
Kkampuni za bannansi zirina okusoomoozebwa kwe zirina, ng’obutaba na ssente zimala. Abakugu mu by’okuzimba bangi bagamba kkampuni nnyingi tezirina ssente zeetaagisa, tebalina bukugu bumala kukola bintu bituukana n’omutindo gw’ensi yonna, ebikozesebwa bya buseere, ebintu ebibalemesa okuvuganya ne kkampuni eziva ebweru.
Okusoboka okunogera ekizibu kino eddagala, Katumba yagambye nti bakolagana n’ebitongole okuli ekiwooza ky’omusolo ekya URA, minisitule y’ebyensimbi n’ebitongole ekya Private Sector Foundation okuyamba kkampuni za bannansi nga babakendeereza ku misolo n’okubakwasizaako mu bintu ebisoboka. Gavumenti era efaayo okulaba nga yeewala okusemba kkampuni eziraga mu biwandiiko nti za Bannayuganda, kyokka nga bannyini zo bagwira
Aba kkampuni ezisuubirwa okuwaayo ebikozesebwa boogedde
Maneja avunaanyizibwa ku kukulaakulanya bizinensi mu kkampuni ya Roofings Group, Stuart Mwesigwa, yagambye nti bo beetegefu okwongera ssente mu mirimu gyabwe, okulaba nga batuukana n’omutindo kontulakita wa Pulojekiti y’eggaali y’omukka gwayagala. Yannyonnyodde nti babadde n’enkiiko nnyingi nga kkampuni ku Pulojekiti y’eggaali y’omukka, era okusinziira ku maanyi ge bazimbye, balina obusobozi okuwaayo ebikozesebwa byonna pulojekiti bye yeetaaga.
Kino Mwesigwa agamba nti kivudde ku tekinologiya ow’ekikugu gwe bakozesa, n’abakozi abali ku mulembe ate nga balina obusobozi. Mu mbeera eno, agamba nti beetegefu okwongera okuteekamu ssente bafune tekinologiya asingako batuukane n’omutindo ogwetaagisa ku pulojekiti eno.
Ebyuma byonna pulojekiti bye yeetaaga, agamba nti balina obusobozi okubikola, kasita babawa pulaani yaabyo.
Mu kiseera kino, kkampuni ya Roofings Group eri mu nteekateeka etuusa ebyuma ebyongera omutindo n’okusaanuusa eky’obugagga kya Iron Ore mwe bakola ebyuma bya sitiiru, okusobola okufuna obulungi mu ky’obugagga kino ekisimibwa mu Uganda.
Kkampuni ya Roofings Group, y’emu ku kkampuni ennene mu Uganda, ezikola ebizimbisibwa era ng’ebadde mu katale okumala emyaka 30, ng’ebalirirwamu obukadde bwa doola 400 (eza Uganda zibeera 1, 430,745,140,000/-).
Mu April w’omwaka guno, Pulezidenti w’ekibiina ekigatta ba kontulakita b’okuzimba (Uganda National Association of Building and Civil Engineering Contractors), Kiara Binta Nkuranga, yayogera ne ttiimu evunaanyizibwa ku pulojekiti y’eggaali y’omukka