ENTEEKATEEKA z'okuggulawo amasiro ga Ssekabaka Kammanya e Kasengejje-Wakiso mu Busiro, ziwedde.
Olunaku lwa Leero ebikujjuko ebinakulembera omukolo gw'okuggulawo amasiro gano nga December 15,2025 birangiriddwa nga bitandika ku Lwokuna nga December 11,2025 n'okusimba emiti ku luguudo oluyitibwa Kasengejje oluva mu tawuni y'e Wakiso okudda e Kasengejje nga gyakusimbwa okutuuka ku kyalo Najjemba ku luguudo oludda e Matugga.

Amasiro ga Ssekabaka Kammanya nga bwegafanana
Omukwananya w'ekibiina Kya Bannaava, Bassaava, Bakiweweesi, mu lulyo Olulangira, Naava Kaana Zawedde ategeezeezza nga bwebalubirira okukuuma obutonde bwensi n'okuzzaawo ekibuga kya Kammanya ng'ono Kabaka wa Buganda owa 28 mu butonde bwaakyo nga bwebwabeeranga edda.
" Tulina enteekateeka y'okusimba emiti ku Kasengejje Road egisukka 400 okuzzaawo obutonde bw'ekibuga kino," Naava Kaana bwagambye.
Naava Kaana ategeezeezza nti amasiro gano gagenda kuggulwawo mu Ttabamiruka wa Bassaava ne Banaava owoomulundi ogw'omusanvu ng'akabonero akalubiriddwa okwongera okubakunga okwenyigira mu mulimu gw'okuddabiriza amasiro ga Bassekabaka ba Buganda gonna.
" Omulimu guno guwagiddwa Nnaalinya Stella Ndagire Sirwamitanda Kiyumba V ng'era Ono asaanye okulabirwako Bannalinnya abalala, bazzeewo ebibuga bya Bassekabaka. Bannaava ne Bassaava bagenda kusigala nga bakola omulimu gw'okukwatizaako n'okulondoola ebyo ebikolebwa," Naava Kaana bwayogedde Nnaalinya Ndagire ng'ebiseera ebisinga abeera bweru.

Wano Naava Kaana ng'akwasibwa erimu ku ddaggala erinakozesebwa mu kujjanjaba abantu
Ebikoleddwa mu kifo kino ekiwerako yiika ssatu kuliko okuzza obuggya enju ya Kammanya eyitibwa Kasajjakaaliwano, Ekigango, Enju Bujjabukula, Enju Kajjaga omukuumirwa Omulongo we Ssebukuule Bakumba na Mulamu.
Amasiro gano gazimbiddwako bbugwe, ekintu Kaana kyagambye nti kyagendererwamu okwewala abasaatuusi ng'era kye kyetaaga okukola ku masiro gonna okusobola okugakuuma.
Omulangira Dalton Bulungu, omu ku bali mu nteekateeka ategeezeezza nga bwebagenda okuwa abantu eddagala ku ndwadde mu lusisira olunabeerawo nga December 14, 2025 mu Lubiri luno bwatyo n'akowoola, abantu ba Buganda okujja okwefunira ku bujjnjbi buno.
Umar Matovu okuva mu Kibiina ki Friends Sickle cell Assoc asabye abantu okujja mu bungi beekebeze obulwadde bwa Nnalubiri.

Wano Naava Kaana oluvanyuma lw'okukwasibwa emiti okuva ewa Samula (Ali ku ddyo mu bbuulu)
Ebikujjuko bino biwagiddwa aba Cidi abakikkiriddwa Omulangira Vincent Samula ng'ono akwasizza Kaana emiti eginasimbiwa, Cachet Pharmaceuticals abakikkiriddwa Suchit Pandey nabo abawaddeyo, Kayondo Foundation ekulemberwa Omulangira Henry Kayondo n'abalala.