Amawulire

ABANTU 5 bafiiridde mu kabenje akagudde e Mayuge n'abalala babiri ne bafuna ebisago

ABANTU 5 bafiiridde mu kabenje akagudde e Mayuge n'abalala babiri ne batuusibwako ebisago eby'amaanyi.

ABANTU 5 bafiiridde mu kabenje akagudde e Mayuge n'abalala babiri ne bafuna ebisago
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABANTU 5 bafiiridde mu kabenje akagudde e Mayuge n'abalala babiri ne batuusibwako ebisago eby'amaanyi.

Kabaddemu emmotoka nnamba UAE 145H Benz loole ne pikipiki nnamba UGH 904 L  TVS Star era ng'ebidduka byombi bibadde biva ku ludda lwa Namayingo okudda e Mayuge.

Kitegeezeddwa nti bwe bituuse e Girigiri pikipiki bbiri ne ziyimirira ku mukono ogwa kkono ku luguudo oluva e Namayingo okudda e Mayuge nga balindako emmotoka endala ebadde eweta mu kkubo, nti Benz ebadde etisse ebikajjo kwe kubatomera ng'eva emabega ne yefuula emirindi egiwerako.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti abafudde bonna babadde batambulira ku pikipiki era ng'ebidduka bitwaliddwa ku poliisi e Mayuge.