Amawulire

Omuwendo gw'abantu abakwatiddwa ku bulumbaganyi ku musuubuzi mu ggwanda gweyongedde

OMUWENDO gw'abantu abaakakwatibwa ku bulumbaganyi obwakolebwa ku musuubuzi ku kizimbe kya Gwanda mu Kampala, baweze 8

Omuwendo gw'abantu abakwatiddwa ku bulumbaganyi ku musuubuzi mu ggwanda gweyongedde
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

OMUWENDO gw'abantu abakakwatibwa ku bulumbaganyi obwakolebwa ku musuubuzi ku kizimbe kya Gwanda mu Kampala, baweze 8.

Obulumbaganyi buno, bwabaddewo wiiki ewedde, mwe baasikidde ensawo y'omusuubuzi egambibwa okubaamu obukadde 60 nti n'oluvannyuma ne bagezaako okutema abaduukirize.

Akatambi k'obunyazi buno, kaasaasaanidde ku mitimbagano egy'enjawulo era poliisi n'etandikirawo okukola omuyiggo n'esooka ekwatako basatu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti bakakwata abantu 8 abagambibwa okwenyigira mu bunyazi buno nga kuno kwogasse ne pikipiki 5 ze babadde beeyambisa mu bubbi.

Agasseeko nti omuyiggo gw'akabinja kano, gugenda mu maaso okukaabuluzaamu.

Ayongeddeko ng'ebikwekweto by'okuyigga abagambibwa okuba abamenyi b'amateeka nabyo bwe bikyagenda mu maaso n'agamba nti e Wandegeya ku katale nemu Katanga, bayodde 42.