Omusirikale w'ekitongole ky'obwannanyini agambibwa okukuba omuwala akola mu bbaala amasasi agamusse, poliisi emukutte.
Vincent Kimonyo 53 owa New Securiko, y'akwatiddwa ku bigambibwa nti akubye Imacculate Mpereza 25 amasasi agamuttidde ku bbaala
Bibadde ku bbaala ya People's bar mu Nansana West era ng'omuwala abadde abeera mu Nansana B West.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Recheal Kawala, agambye nti bakyabuuliriza okuzuula ekyavuddeko ettemu eryo