Amawulire

SSABASUMBA w'Eklesia y'Abasodokisi okwetegekera okusaba kw'amazaalibwa ga Kabaka

SSABASUMBA w'Eklesia y'Abasodokisi okwetegekera okusaba kw'amazaalibwa ga Kabaka 

Metropolitan Jeronymos Muzeeyi ng'abuulira
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

SSABASUMBA w'Eklesia y'Abasodokisi, Metropolitan Jeronymos Muzeeyi asabye abakkirizza  Abasodokisi okwetegekera emikolo okuli okusaba kw'amazaalibwa ga Kabaka okunabeerawo nga April 13, Kabaka Mutebi II bwanabeera emyaka 71. 

Emikolo emirala gyabasabye beetegekere lwe lukungana lw'Abakyala abakkiririzza mu Kristo olugenda okubeera e Namungoona wakati wa March 4-5,2026 ate n'Okusaba kw'Abakyala kw'okukuza olunaku lw'Abakyala okunabeerawo nga March 6,2026 saako n'omukolo gw'okujjukira abakulembeze b'Eklesia abaasooka okuli Bp. Ssebanja Spartas Mukasa, Metropolitan Theodore Nankyama ne Metropolitan Jonah Lwanga nga June 3,2026.

Abasodoki nga bali mu kusaba

Abasodoki nga bali mu kusaba

Okusaba bwaati yasinzidde mu Mmisa y'okujjukira Ssande  esooka mu kisiibo ky'Abasodokisi eyitibwa Ssande y'Obusodokisi (Sunday of Orthodoxy) ku Lutikko y'Abasodokisi e Namungoona ku lwa Ssande March 1,2025 n'asaba abakkirizza okwetegeka obulungi  okwaniriza abagenyi mu ngeri esingayo obulungi.

Olunaku luno Abakkirizza bafuluma wabeeru w'Eklesia nebeetolola   nga bweboolesa ebifananyi ng'akabonero k'obuwanguzi Eklesia  bweyatuukako okubisigaza munda mu ssinzizzo.

Wakati womwaka 726 ne 843 waliwo okusika omuguwa mu masinzizo ku nsonga y' ebifananyi  by'Abatume n'Abatukuvu  okubeera mu masinzizo nga abamu baali baagala ebifaananyi bino bive masinzizo nga bagamba nti waliwo abaali batandise okubisinza mu kifo ky'okusinza Katonda omu.

Kyoka mu mwaka 843 bano batuuka ku kukkaanya era nebakiriza nti ebifananyi bino bikomezeebwewo mu  masinzizzo kubanga byali biyamba abagoberezi okwefumitiriza ku bantu abo olwo nabo nebongera okwewonga eri omukama.

Kati okuva olwo n'okutuusa olwaleero abagoberezi nenzikiriza y'abasodokisi olunaku olwo balujaguza buli Ssande esooka mu mwezi gw'ekisiibo eyitibwa Ssande y'Obusodokisi era Ssabasumba Muzeeyi yagambye ebifananyi bino bissibwamu ekitiibwa kubanga abantu abo nabo baatondebwa mu kifananyi Kya Katonda nga ffe abantu abali ku nsi mu kiseera kino.

Abasodokisi nga basitudde ebipande bya Biikira Maria

Abasodokisi nga basitudde ebipande bya Biikira Maria

 Ssabasumba Muzeeyi  era yasinzidde wano n'asaba buli Musodokisi okukozesa olunaku luno  okwongera okubunyisa ekigambo ky' enzikirizza yaabwe, ebuune mu ggwanga lyonna kubanga buli muntu agyetaaga. 

Mu Mmisa eno mubaddemu okwebaza Katonda olw'okutikkirwa Diguli Dorah Nankumba, Alexandra Nassuuna ne Edwin Tomusange  eyakuguse mu Tekinologiya w'empuliziganya nga bano beebaziddwa olw'okujja okwebaza Katonda olw'obuwanguzi bwebaatuseeko okuva ku Yunivasite e Makerere ne Cavendish Yunivasite.