ABASIIRAMU bonna mu ggwanga bakubiriziddwa okwongera amaanyi mu ebikolwa eby’ekisa n’okuduukirira abali mu bwetaavu naddala mu kiseera kino nga banaatera okumalako ekisiibo kino kibayambe okwongera okuganyulwa mu kusiiba kwabwe.
Bino byageddwa omubaka wa Turkey mu Uganda Mehmet Fetih ku mukolo gw’okusiibulula Abasiraamu ku ttendekero lya Islamic University in Uganda (IUIU) e Kibuli gwa gwategekeddwa ekitongole kya Turkey ekya TIKA n’ekigenderera eky’okusiibulula abayizi Abasiraamu abasomera mu masomero n’amatendekero ag’enjawulo agali ku kasozi Kibuli wamu ne Bannansi b’eggwanga lya Turkey abawangaalira mu Uganda.

Abamu ku bayizi Abasiraamu nga basiibulukuka e Kibuli
Mehmet yagambye nti obudde bw’ekisiibo tebukoma ku kusiiba oba okugabana eby’okulya mu kusiibulukuka kyokka wabula kyetaagisa n’okusaba ennyo Katonda nadddala abantu okufuna omutima ogulumirirwa abalala ensi esobole okubaamu emirembe.
Ono yajjukiza abayizi abaasiibuluddwa ne nti bebaakwatiridde ebiseera bya Uganda era n’ebyobusiraamu eby’omumaaso nga balina okufuba okubeera abasaale mu kuleeta emirembe mu nsi yonna naddala mu kiseera kino ng’ensi ejjude entalo n’ebikolwa eby’obutujju.
Omukolo gwegumu gwetabiddwako omubaka wa Uganda e Turkey Nusura Tiperu nga yagambye nti futaali eno eyategekeddwa ne Bannansi ba Turkey yayongedde okulaga obwa Sseruganda wakati w’abantu b’amawanga gombi.

Abakulembeze ba IUIU nga basiima Abaturkey olw'okusiibulula abayizi. Okuva ku kkono ye mubaka wa Uganda e Turkey Nusura Tiperu, Polof. Isamil Simbwa Gyagenda, Omubala wa Turkey mu Uganda Mehmet Fetin ne Murat Cetin
Akulira Yunivasite ya IUIU Polof. Ismail Simbwa Gyagenda yasiimye TIKA olw’okuteekateeka futaali eno eri abayizi ate n’emirimu emirala gyebakola mu ggwanga era n’abasaba era n’abasaba okugenda mu maaso.
Akulira TIKA mu Uganda Murat Cetin beenyumiriza mu mbeera Gavumenti gyeyateekawo n’ebakkiriza okukolera emirimu egy’enjawulo mu ggwanga era n’ajjukiza Abasiraamu okusabira ennyo abantu abali mu ntalo kubanga bangi tebalina waadde eddembe ery’okutulako awamu nebagaba eky’okulya