Amawulire

Bugema Yunivasite ewangulidde Uganda emidaali mu misinde gy'ensi yonna e Italy

Bugema Yunivasite ewangulidde Uganda emidaali mu misinde gy'ensi yonna e Italy

Abayizi ba Bugema Yunivasite nga bakomyewo ku kisaawe e Ntebe okuva e Italy gyebwangulidde emidaali mu misinde
By: John Musenze, Journalists @New Vision

Bugema Yunivasite ewangulidde Uganda emidaali mu misinde gy'ensi yonna e Italy

Bya Sharon Nabasirye ne John Musenze

ABAYIZI ba Ssetendekero lya Bugema baaniriziddwa ku kisaawe e Ntebe mu bitiibwa oluvannyuma lw'okuwangula emisinde gy'amatendekero ga Yunivasite egy'ensi yonna egibadde giyindira mu ggwanga lya Italy

 Elisha Yeko yawangudde omudddaali gwa zzaabu (ku ddyo) ne Solomon Cherotwo eyawangudde Bronze (ku kkono)(Ekif; Kya Sharon Nabasirye)

Elisha Yeko yawangudde omudddaali gwa zzaabu (ku ddyo) ne Solomon Cherotwo eyawangudde Bronze (ku kkono)(Ekif; Kya Sharon Nabasirye)

Elisha Yeko yawangudde omudaali gwa zzaabu ate  ne Solomom Cherotwo n'awangula omudaali gwa bulonzi nga bonna bayizi ba Bugema Yunivasite.

Oluvannyuma lw'okuwangula emidaali gino bombi beebazizza nnyo Yunivasite yaabwe ssaako ne Gav't olw'obuwagizi bwebabawadde kino kibawadde amaanyi okukolera awamu okutuuka ku buwanguzi.

Amyuma akulira Yunivasite ye Bugema Kafeero Masiko(Ekif; Sharon Nabasirye)

Amyuma akulira Yunivasite ye Bugema Kafeero Masiko(Ekif; Sharon Nabasirye)

Ye Kafeero Masiko omumyuka wakulira yunivasite eno agamba kya ssanyu Bugema okukiikirira Uganda yonna ate n'evaayo n'obuwanguzi  bwato ne yeebaza Gav't olw'okwenyingira mu kutumbula ebitone by'abaana