KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abazadde n'amasomero okutendeka abaana okuva buto nga bamanyi ensonga z'Obwakabaka nti zaabwe era zibakwatako.

Abayizi ba Pamville bali ne Katikkiro
Mayiga eyakava mu luwummula agamba nti abaana ensonga ezikwata ku Bwakabaka bwezinabayigirizibwa mu bukulu bayinza obutazifako nga beesulirayo ogwannagamba.
Okwogera bino abadde akuliddemu okutikkula Oluwalo lw'Abakukembeze b'abayizi mu massomero ga Pulayimale mu Uganda ate n'amassomero okuli Gayaza Junior School, St. Theresa Girls P/S e Gayaza, Pamville P/S ne All Saints P/S e Kasangati abazze ku mbuga y'Obwakabaka enkulu e Bulange-Mmengo.
Katikkiro Mayiga yeebazizza abasomesa n'abayima b'abayizi olw'okuteeka amaanyi ku kutendeka abakulembeze kyagambye nti kyagambye nti kikulu nnyo.

Mayiga nga yeebaza Nabatanzi oluvanyuma lw'okwogera.
Diellah Nabatanzi akulira abakulembeze b'abayizi mu massomero ga Pulayimale mu Uganda yeebazizza Obwakabaka olw'okubawa omukisa nebeetaaba mu nteekateeka zaabwo ng'okuwa Oluwalo, okwetaba mu Kisaakaate Kya Nnaabagereka n'endala neyeyama ku lwa banne okutwala enteekateeka zino mu nkola nga balaga eky'okulabirako eri be bakulembera.
Ye David Victor Sansa nga y'akulira emirimu mu Kibiina kino ekitwala abakulembeze b'abayizi ategeezzeezza ng'ekimu ku biruubirirwa byaabwe kwe kuyigiriza abaana ebikwata ku ggwanga lyaabwe nga batandikidde mu Buganda kubanga wewatandikira eby'enjigiriza byebasoma kaakano.
Abakulembeze b'abayizi n'amassomero ago baleese ssente eziweze 2,160,000/-