Amawulire

Ebya Nyanzi okuwa obujulizi ku basibe bitiisizza aba NUP

EKYA Gavumenti okusalawo okuleeta mukulu wa Robert Kyagulanyi, Fred Nyanzi ng’omu ku bajulizi baayo mu musango gwe bavunaana abavubuka ba NUP olw’okwenyigira mu Dduyiro w’ekinnamagye kisattiza ekibiina kya NUP.

Fred Nyanzi ajja ng’omujulizi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EKYA Gavumenti okusalawo okuleeta mukulu wa Robert Kyagulanyi, Fred Nyanzi ng’omu ku bajulizi baayo mu musango gwe bavunaana abavubuka ba NUP olw’okwenyigira mu Dduyiro w’ekinnamagye kisattiza ekibiina kya NUP.
Kyaddiridde omuwaabi wa Gavumenti okutegeeza kkooti nga bwe bategese Fred Nyanzi
n’omusirikale wa poliisi Armstrong Soma okulumiriza abasibe 21.
Abasibe kuliko; Edward Ssebuufu (Eddie Mutwe), Alex Waiswa Mufumbiro, Olivia Lutaaya, Achileo Kivumbi, Sauda Madaada, Tasi Calvin (Bobi Giant), Edwin erunkuuma (Eddie King Kabenja), Sharif Lukenge, Yasin Nyanzi ne Tonny Kaweesi n’abalala.
Abakwate bavunaanibwa omusango gw’okukola dduyiro w’ekinnamagye nga tebalina lukusa ekintu ekikontana n’ennyingo ya 45 (1) (b) eya Penal Code Act.
Okusinziira ku tteeka, omusango bwe gukusinga, osibwa emyaka musanvu ate abamwenyigiddemu  obutereevu mu kutendekebwa basibwa emyaka etaano.

Waliwo akatambi akaafuluma mu February wa 2025 nga kalaga abavubuka abaakazibwako erya “foot soldiers” nga bakola dduyiro eyeefaanaanyirizaako ow’amagye ku paleedi bwe baali bajaguza amazaalibwa ga Kyagulanyi. Baali
bambadde ovulo emmyuufu era Kyagulanyi yalambula ennyiriri zaabwe ng’akulembeddwa Nyanzi eyakazibwako erya Chairman. Omwogezi w’eggye lya UPDF, Maj. Gen. Felix Kulaigye yategeerezaawo
nti bonna abaalabikira ku paleedi baali bagenda kukisasulira. Ekyaddirira, kwali kukwata bantu ab’enjawulo abagambibwa okwetaba ku paleedi era ne Nyanzi mwe baamuyoolera ng’ali ku nkulungo Kubbiri naye oluvannyuma yasuulibwa ku kkubo.

Bannakibiina kya NUP nga batuusibwa ku kkooti e Kanyanya.

Bannakibiina kya NUP nga batuusibwa ku kkooti e Kanyanya.


NYANZI KY’AGAMBA
Nyanzi agamba, bwe yakwatibwa yatulugunyizibwa ekitongole ky’amagye ekya CMI ekyafuulibwa JATT bwe yali tannasuulibwa ku luguudo.
Bwe yakwatibwa yalagibwa akatambi akalaga abantu abaali ku paleedi nga baagala okumanya be baani.
“Olwokuba ekibiina kya NUP bye kikola byonna biri mu musana, nababuulira agamu ku mannya ge nali mmanyi kuba ekibiina kyaffe tekiriiwo mu bumenyi bw’amateeka” Ekya Gavumenti okwagala agiyambeko okulumiriza bakwate yagambye nti, kigendereddwaamu kumuggya ku mulamwa gw’omusango gwe yaloopa ogw’okumubba obululu e Kawempe South mu kulonda kwa January 15, 2026.
“Kino baagala kukikozesa ng’ekyokulwanyisa okutiisatiisa n’okuleetawo okutya n’obuteesigang’ana mu bawagizi baffe naddala aba NUP n’oludda oluvuganya nga bakozesa akakodyo k’abakulembeze okulumiriza bannaabwe” Nyanzi bwe yagambye.
Omu ku bakulembeze ba NUP ataayagadde kumwatula mannya yagambye Nyanzi talina musango, Gavumenti yamala kumutulugunya okubaako amannya ge yawaayo. N’agamba nti, obuzibu bwe basanga, abawagizi ba NUP bababuuza bingi ku ngeri kino bwe kyaggyamu era balina omulimu munene okubamatiza nti si ddiiru. N’agamba nti, mu mateeka okubeera omujulizi wa Gavumenti tekitegeeza nti ogenda kuwaayo bujulizi
obulumiriza abakwate, wabula kitegeeza nti waliwo ng’omusango guzzibwa oba ng’olina obujulizi obukulu bwe balaba nga busobola okuyambako mu musango.
Munnamateeka Eron Kiiza yagambye nti, kimanyiddwa nti Nyanzi yawambibwa n’atulugunyizibwa, kale by’ayogerera mu mbeera eyo, tebuba bujulizi. Omusango guddamu nga May 15, 2026 ng’abasibe abamu bamaze ku limanda emyezi egisukka mu 10. Nyanzi ye mukungu w’ekibiina avunaanyizibwa ku nkolagana y’amawanga era yaliko Ssaabakunzi wa NUP. Yasooka kubeera wa NRM era yavuganyaako mu kamyufu ka NRM ak’obubaka bwa Kampala Central ng’ekibiina kya NUP tekinnabaawo.
Mu 2021 yeesimbawo ku bubaka bwa Kampala Central n’awangulwa Muhammad Nsereko, ate mu 2026 yeesimbyewo e Kawempe South n’awangulwa Madinah Nsereko.