Amawulire

America esabuukuludde mizayiro enkambwe okugonza Iran

America esabuukuludde mizayiro enkambwe okugonza Iran

Mizayiro za America eza Dark Eagle bw’efaanana. Emabega kye kimotoka kwe bagitambuliza.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

WASHINGTON, America
AMERICA ereese mizayiro ey’amaanyi gy’etekozesangako mu lutalo lwonna mu nsi, egikube Iran olutalo luggwe.
Bagiyita Dark Eagle Long-range Hypersonic missile ng’egwa mu kika kya mizayiro n’ebyokulwanyisa ebisingirayo ddala okudduka emisinde.
Mizayiro eno eyakoleddwa kkampuni ya America eya Lockheed Martin, ekyali mpya nnyo era gwe gunaaba gusoose okugikozesa kubanga baakakolawo ntono.
Okumanya olutalo lwa Iran lutaamye, mizayiro eno yakolebwa kutaasa America ssinga ebeera erumbiddwa China oba Russia. Yakolebwa nga yokka y’esobola okubuuka sisitiimu z’ebikompola bya Russia ne China ekika kya advanced air defense systems, n’ekuba tageti munda mu mawanga ago.
Essaawa eno, mizayiro eyo okuggyibwayo ku lutalo lwa Iran, kiraga bwe luwanvuye.
Emu egula obukadde bwa ddoola 15 okusinziira ku mawulire ga NDTV, mu za Uganda 56,414,805,000/-. Kiteeberezebwa nti ezaakakolebwawo ziri munaana zokka.
Bw’ogulirako n’ekimotoka ekigzitambuza era nga ky’ekigikasuka, sisitiimu eggweera mu buwumbi bubiri n’obukadde 700 eza ddoola. Mu za Uganda 10,154,664,900,000/-
Ekimotoka ekizitambuza kirina tekinologiya nga kisobola okwekyusakyusa n’okuva mu kifo ekimu nga bwe kidda mu kirala era y’engeri y’emu mizayiro eyo bwe kiba kigikasuse ng’edda muno edda muli, nayo bw’edduka.
Ekyo kigiyamba obutakubwa bikompola bya mulabe ate n’eba ng’edduka nnyo.
Ebikompola by’omulabe bigenda okugirengera ng’etuuse ku tageti ekitegeeza nti, mu kugyekanga, ebeera tekyasobola kukubwa.
Ekuba wala ddala mu mmayiro 1,725 okusinziira ku mukutu gwa Wikipedia. Ab’ekitebe ky’eggye lya America ekya Pentagon basuubira nti mu kiseera kino, y’esaana okukozesebwa okumala Iran amampaati.
Ekyewaza Iran n’etuuka n’okulabula America nti bw’eteggulawo kagolomolo bwe yasibiddeyo emmeeri zaayo (Iran), egenda kukolawo akatiisa, okusiriikiriza mu kulwana bwe kwabaddeewo, eggwanga eryo lyaweesezza mu kasirise mizayiro endala nnyingi.
Okugatta ku ekyo era, mizayiro ez’amaanyi ga Ballistic n’ebimotoka ebizikasuka (launchers) ezaali tezikubiddwa ggye lya America ne Yisirayiri mu lutalo nga terunnasirikamu, yazongezzaayo ewala ennyo mu mpuku eziri mu masosso g’ebyalo ekikaluubiriza amawanga ago okuzikuba obulungi.
Kati America ky’eva eyagala ereete Dark Eagle ewenyuka obuweewo ezikube mu bwangu yonna gye zaakukuliddwaMu kusooka, ebadde ekozesa mizayiro nazo ez’amaanyi ekika kya Precision strike missile wabula nga Dark Eagle ky’ezisingako, bwe bwangu bw’ekozesa mu kudduka, okukuba omulabe n’okukuba ewala.
Okusalawo okusembayo okukozesa mizayiro ezo, kigenda kuva ku Pulezidenti Donald Trump ssinga anaasalawo okuddamu okukuba Iran, eyagaanye okuva ku by’okuweesa bbomu za nukiriya nga bw’agamba.
Kati Pentagon erowooza nti, Dark Eagle y’ejja okukaka Iran