Amawulire

KCCA ereese bbaasi, abattakisi ne batabuka

ABADDUKANYA omulimu gwa ttakisi mu Kampala basattira olwa KCCA okuleeta bbaasi empya ttuku ezikozesa amasannyalaze zitandike okusaabaza abantu.

Emu ku bbaasi ezireeteddwa KCCA ng’esaabaza abantu mu Kampala.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABADDUKANYA omulimu gwa ttakisi mu Kampala basattira olwa KCCA okuleeta bbaasi empya ttuku ezikozesa amasannyalaze zitandike okusaabaza abantu.
Wabula abattakisi luno balulabye ng’olukwe lw’okubagoba mu mulimu ne mu kibuga. Baagambye nti, KCCA kitongole kya Gavumenti kye batasuubira kwenyigira mu mirimu gikola magoba era bwe kiba kitandise okusaabaza abantu kitegeeza bagenda kuvuganya nakyo ate nga bo basasula emisolo.
Bbaasi zino eziwandiikiddwaako ebigambo ‘E- BUS EXPRESS’ zaatandise wiiki ewedde okukola oluvannyuma lwa dayirekita wa KCCA, Hajjat Sharrifah Buzeki okulangirira nti pulaani ya KCCA ey’okukendeeza omujjuzo mu kibuga mpanvu.
Buzeki yagambye nti, pulaani erimu okukendeeza ku mujjuzo gw’ebidduka naddala emmotoka ziganyegenya ezifulumya omukka ogw’obulabe ogukosa abantu n’obutonde bw’ensi.
Bbaasi zino zaakoleddwa bayinginiya abakugu aba kkampuni ya Kira Motors Ltd wano mu Uganda. Buzeki yagambye nti, ttakisi ezimu zisusse obukadde ate endala zifuuwa omukka ogw’obulabe.
Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwe Abiine yategeezezza nti baatandise ne bbaasi ssatu ezikola okwetooloolo nga zisimbula ku kibangirizi kya ssemateeka (City Square) ne zigenda e Nakawa, Ntinda ne zidda e Kamwokya, Mulago, Wandegeya, ne zikomawo.
Yagambye tezirina ppaaka we zisimba wabula ziyimirira ku siteegi okulondawo abasaabaze ne zitambulirawo era teziyita basaabaze. Abasaabaze basasulira ku ssimu, teri akkirizibwa kukwata ssente. Okugitambuliramu osasula 2,000/- zokka ku buli lugendo.
ABATTAKISI BALUYISE LUKWE KUBAGOBA
Abattakisi balaze okutya nga bagamba nti bulijjo KCCA bw’ebaako by’eyagala okutereeza mu kusaabaza abantu, babeebuuzaako wabula ku luno tebaabanyeze.
“Ffe tukola omulimu gw’okusaabaza abantu era Gavumenti tugisasula buli mwezi. Esalawo etya okukola omulimu gwe yatukwasa okukola?” Omumyuka wa ssentebe wa UTOF Mustafa Mayambala bwe yeebuuzizza.
N’agamba nti bino babiwakanya era baagala KCCA ebayite bagiwe ebirowoozo byayo naye bw’eteekikole bagenda kusalawo ekyokukola nga bo bannannyini mulimu.
Mayambala yagambye nti, enguudo okutandikidde bbaasi ziriko abattakisi abakolerako mu mateeka, baaweebwa ‘route charts’ ezibakkiriza okukolerako awatali kuvuganyizibwa bbaasi.
Wabula Nuwe Abiine yagambye nti, baatandikira ku kutereeza nguudo nga bagobako ababadde bakolerako, n’okulaba nti ekibuga kifuna we kissiza. N’agamba nti, bbaasi emu egendamu abantu kumpi ba ttakisi ssatu era ssinga enteekateeka ya bbaasi ennyingi etuukirizibwa, abantu baakufuna ku mpewo ennungi mu kibuga kuba n’abavuga mmotoka z’obwannannyini bagenda kutambulira mu bbaasi zino.
Bukezi bwe yabadde mu musomo gw’okulwanyisa omukka ogw’obulabe ogwabaddewo ku Lwokutaano, yagambye nti, basimbye ebyuma mu bifo 100 okwetooloola Kampala ebikebera empewo ate baakwongera okusimba omuddo n’emiti.
Yalangiridde nti KCCA tekyakkiriza muntu kwokya kasasiro wadde okumala gakuma muliro oguvaamu omukka mu kibuga ate ne kasasiro ateekwa okutwalibwa mu budde. Omusomo guno gwetabiddwaamu abakugu okuva mu minisitule y’entambula, ey’obugagga ebw’omu ttaka, ba pulofeesa okuva ku yunivasite e Makerere abaakulembeddwa polof. Lynn Atuyambe n’abalala