SSAABASUMBA w’Essazza Ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere asiimye Gavumenti olw’okwanguya okuwozesa omusango gwa Christopher Okello eyatta abaana e Ggaba n’ategeeza nti, kirungi obutakandaaliriza misango, n’asaba n’emirala naddala egivunaanibwa bannabyabufuzi nagyo okukwatibwa mu bwerufu abantu okusobola okufuna obwenkanya.
Bino yabyogeredde ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’ekigo kya St. Joseph e Nansana ku wokutaano gye yagguliddewo ekizimbe ky’ebyobusuubuzi. Ssaabasumba yagambye nti, omusango gwa Okello gwalaze nti, kkooti zirina obusobozi obukola ku misango mu bbanga eggere n’ajjukiza bannamateeka okuyimirira ku mazima n’okulaba ng’abantu bonna bafuna obwenkanya.
“Ndi musanyufu nti, akasajja ka Okello akatta abaana kkooti yakasingisizza omusango mu bbanga lya wiiki ssatu zokka, naye bannange waliwo emisango egikandaaliridde mu kkooti nga bangi bamaze emyaka egisoba mu etaano ku limanda kyokka nga tebawozesebwa. Nsaba kkooti zikole ku nsonga zaabwe kuba abamu bayinza okuba
tebalina misango kyokka nga bavundira mu kkomera,” Ssaabasumba Ssemogerere bwe yagambye.
Mu mmisa Ssaabasumba yatabukidde abasajja abeesamba obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka kyokka ne badda mu kutulugunya abakyala n’abaana, n’abasaba okutwala eky’okulabirako kya Yosefu, kitaawe wa Yezu eyeetikka obuvunaanyizibwa bw’okumulabirira mu mbeera yonna awatali kwekaanya. Yasabye abakulembez okukomya enjawukana n’entalo ezizza ebitundu byabwe emabega, wano yayise omubaka omulonde Zambaali Bulasio Mukasa ne Ying. Stephen Kaweesa bwe baavuganya ku bubaka bwa munisipaali y’e Nansana n’abakulembeze abalala abaludde
nga bagugulana n’abasabira era n’abakuutira okwongera okubeera obumu okuweereza abatuuze b’e Nansana.
RDC wa Nansana, Charles Lwanga yasiimye Klezia olw’okukozesa emirembe egyaleetebwa gavumenti ya NRM okuteekawo ebintu by’okwekulaakulanya ekiyambye okwongera okutondawo emirimu n’asaba Bannayuganda okwongera okwettanira pulojekiti za gavumenti omuli PDM , Emyooga n’endala okwongera ku nnyingiza yaabwe nga bwe bongera n’okusaba Katonda. Omubaka omulonde owa Nansana Munisipaali, Zambaali Bulasio Mukasa yasiimye Ssaabasumba olw’okuvaayo n’asitula eddoboozi naddala ku nsonga ezibeera zitatambula bulungi mu ggwanga.