Eyaliko gavana wa Rotary, Rosette Nabbumba Nayenga asiimye bannalotale abawaddeyo obuyambi okukira ku bannaabwe ne bafuuka ba Paul Harris Fellow (PHF). Bannalotale bano bawaddeyo ddoola 1000 mu kittavu kya Rotary eky'ensi yonna ekya Rotary Fund.
Gavana Nabbumba bano abasiimidde ku mukolo gw'okukyusa obukulembeze bwa 'club' bbiri okubadde eya Mukono ne Mukono Central, nga gubadde ku Colline Hotel.

Gavana Rosette Nabbumba ng'ayanjulira bannalotale Cathy Namoma oluvannyuma lw'okutongozebwa.
Wananda addidde Albert Mooli Sibuta mu bigere abadde pulezidenti wa Mukono, ye Isaac Ssamba y'abadde akulembera aba Mukono Central.

Abafuuse ba PHF oluvannyuma lw'okutongozebwa
Ono era ategeezezza nti wadde 'club' ye ekoze pulojekiti nnyinji mu kitundu kyabwe, kyokka era waakukola pulojekiti endala wabweru wa Mukono okusobola okugitunda mu bitundu ebirala, wamu n'okwongera ku ba memba mu club eno.
Ye Cathy Namoma ng'ono mulwanirizi w'abaana abatulugunyizibwa n'abo abakakiddwa omukwano, yeeyamye bino okubitwala mu maaso n'okudduukirira abaana bano naddala abo abatalina mwasirizi. Ono era asuubizza okutwala club mu maaso ng'ayongereza ku pulojekiti ezikoleddwa gw'adidde mu bigere. Bano buli omu ayanjudde olukiiko lwe bagenda okukola nabo. Ye abadde pulezidenti wa Mukono, Mooli sibuta asiimye bakoze nabo nabakwasa ebirabo.

Baasaze keeki okujaguza obukulembeze obuggya