BWE baalabye nga ffamire ya muwala w’eyali Katikkiro wa Buganda, Ying. John Baptist Walusimbi, ebakandaaliriza ku by’okubasindikira ssente, abaawambye n’okutta Lydia Babirye Ssengendo, 52, baayiiyizza akakodyo k’okusindika ekifaananyi kye.
Baamusibye ebigoye mu kamwa okwongera okubakakasa nti, kye baabadde boogerako bakitegeeza.

Poliisi teyamatidde na kwewozaako kwa Ntege olw’engeri ekifaananyi ky’omugenzi bwe kyabadde kifaanana. Amangu ddala ate Ntege yattottodde engeri gye baakozesa ekifaananyi okufuna ssente eziwerako okuva mu ba ffamire y’omugenzi. Agamba nti, okubasindikira ssente akakadde azaasooka, baakiraba ng’okubayisaamu amaaso kwe kusalawo ne basindika ekifaananyi ng’omugenzi bamusibye ebigoye mu kamwa. Ntege, agambye nti kino kyabakolera kuba oluvanyuma aba ffamire baatandika okubasindikira ssente eziwera okwali 3,000,000/- n’’endala 4,000,000/- okuweza 8,000,000/- ku 19 ze baabadde basabye.
ABAASEMBYE OKWOGERA N’OMUGENZI
Okunoonyereza kulaga nti omugenzi bwe yali ava awaka e Kigoowa-Ntinda, yayogera n’abantu ab’enjawulo. Ku bano kuliko, Abdul Lubega, Jamirah Nakku, bba Saidi Katumba, Francis Ndugga, Sylvia Ssengendo Ssali, Umar Mukuye, Irene Nabayunga,
Grace Makubuya ne Annet Nanyange Ssekibaala. Kizuuliddwa nti Ntege agambibwa okutta Babirye, mu kaseera we baasisinkanira, yayogera ne Isma Ssegujja, Ali Sakali, ne Shafiq Kagga kyokka tekinnamanyika oba balina akakwate ku ttemu lino. OKUNOONYEREZA
Ensonda mu Poliisi zaategeezezza Bukedde nti oluvannyuma lw’okukkiriza omusango gw’okuwamba n’okutta omugenzi, Ntege ne Kagga baatwaliddwa mu kkooti ne bakuba ebirayiro ku bujulizi bwe beewaddeko. Basuubirwa okutwalibwa mu kkooti enkya (Lwakusatu) nga June, 10,2026 bavunaanibwe mu butongole emisango egiri ku ffayiro CRB: 607/2026, ku Poliisi ya Kampala Mukadde.
OKUZIIKA OMUGENZI
Sheeba Nazzibwa, omu ku ba ffamire yategeezezza nti leero lwe baziika ku bijja bya bajjajjaabe e Bakka mu disitulikiti y’e Wakiso.