Amawulire

Okugaba densite kutandikidde mu ggiya e Mbarara

EBIKUMI n’ebikumi by’abantu ku kitebe kya Mbarara City nga kuno kuliko n’abaavudde mu Disitulikiti y’e Mbarara beeyiye mu kifo awalangiriddwa okufuna densite zaabwe.

Abamu ku bantu abazze okunona densite zaabwe e Mbarara.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EBIKUMI n’ebikumi by’abantu ku kitebe kya Mbarara City nga kuno kuliko n’abaavudde mu Disitulikiti y’e Mbarara beeyiye mu kifo awalangiriddwa okufuna densite zaabwe.
Baasimbye ennyiriri ezaawese n’amakoona ng’abasinze bazze kufuna ezo ezazzibwa obuggya, ate abalala okujjuza ffoomu okufuna densite, teekako n’abaalese abaana okubawandiisa n’okufuna ebbaluwa z’obuzaale.

Amyuka akulira Ankole Region, Godson Tumuhimbise yategeezezza ng’omulimu guno bwe gwasoose okubakaluubiriza wabula nga baafubye okulaba nga batereeza ne bakola ku bwetaavu bw’abantu bonna.
Yategeezezza nga ekya densite
Okugaba densite kutandikidde mu ggiya e Mbarara
kigenda kutambula bulungi nga balina okulaba ng’abalina okuzifuna bazitwala.
Abamu ku baasangiddwa mu kifo kino baabadde basobeddwa oluvannyuma lw’okukeera kyokka ebyuma ebikola omulimu nga bitono tebisobola kubanguya kubamalawo.
Era ne mu Disitulikiti ezeetooloddewo, okuli; Rwampara Isingiro ne Ibanda enteekateeka y’okusembereza abantu densite nayo egenda bulkungi mu maaso nga kino kyandiyamba n’okukendeeza ku bigambibwa nti, osooka kuwa nguzi okukuwa densite yo

Tags: