MUWALA w’omuyimbi Paul Kafeero, Stella Nantongo akuuma amaka g’omugenzi agasangibwa e Masaaba Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Buikwe agamba buli luvannyuma lw’ekiseera azze afuna omwana amugamba nti Kafeero y’amuzaala.
Nantongo agamba ky’akola ku buli gw’afuna, akubira ssengaawe Grace Nakkungu n’amunnyonnyola ebiguddewo era bulijjo amuddamu nti mu nju temuba kkubo buli ajja awaka alina okumwaniriza.
Yagambye nti, ne ku lunaku lwe baagenda okukeberebwa DNA e Wandegeya ku Government Analytical Labaratory waliwo abaana abajja era ne bakeberebwa.
Yagambye, waliwo omuvubuka gwe bayita Ssentongo eyali atera okujja awaka n’amulabako nga takirowoozangako nti amulinako akakwate kyokka baagenda naye ku musaayi ng’agamba nti naye mwana wa mugenzi.
Eyasembyeyo okujja ye Stephen Mukiibi eyamutegeezezza nti yavudde e Kassanda n’agamba nti omuzimu gw’omugenzi gumuloosa nti y’amuzaala era gwe gwamukulembedde okumutuusa e Masaaba.
Kyokka yasoose kutyamu kuba eyazze ye Mukiibi abeera yeddira Olugave ate nga bo beddira Nkima. Kyokka omuvubuka yamugambye nti, nnyina ge yamutuuma erya Mukiibi naye nga tamanyi lwaki ate ng’obuzibu mu kiseera kino nnyina yalwala omutwe ne gutabuka.
Mukiibi yategeezezza Bukedde nga bwe yavudde ku kyalo Nanula ekisangibwa muluka gw’e Namiringa mu Kassanda T/C, mu disitulikiti y’e Kassanda.
Yagambye nti, talina buzibu na kumukebera musaayi, kuba omuzimu gwa Kafeero gususse okumuloosa.
“Nze nakula bw’omu kuba maama yafuna obuzibu ku mutwe nga nkyali muto nnyo era tamanyi bigenda mu maaso wadde akyali mulamu. Bwe nkuze ne ntandika okukola emirimu, mpise mu bizibu bingi ebiteetaagisa mwana wa muntu kubiyitamu naye sifunyeemu.
Emyaka ebiri emabega natandika okufuna ebirooto nga Paulo Kafeero anzijira n’ambuuza kye nkola eno nga bw’ang’amba nti, ‘tolina ky’ogenda kufuna mu nsi muno okuggyako ng’ogenze e Masaaba mu Kyaggwe.’
Ekisinga okunnuma Kafeero buli lw’ajja antegeeza nga bwe sijja kuzaala mwana era sirina mwana wadde nga nnina omukazi. Ekyewuunyisa, bato bange bonna balina abaana, ” Mukiibi bwe yategeezezza Bukedde.
Yagambye nti, yali abivuddeko naye bwe yawulidde eby’okukebera abaana ba Kafeero bonna era nga bakikkaatiriza nti ataagende ajja kuba yeggyeemu yekka, naye kwe kujja.
Bwe yabuuziddwa oba tekiimukole bubi nnyina gye yamugaba mu Boolugave nti be bamuzaala ate ye okujja anoonye ekika ekirala, yagambye nti ky’ayagala kimu kuzuula musaayi gwe talina kyabugagga ky’anoonya.
Bwe yabuuziddwa ssinga ebiva mu kukebera bimuwanduka ate nga n’Aboolugave yabeegaana, yagambye anoonya kufuna kituufu era bwe bikomawo nga mwana wa Kafeero, olwo ajja kuddayo mu ffamire gye baali baamugaba abasiibule mu mirembe.
Nantongo yeebazizza Minisita Balaam Barugahara olw’okubawa omukisa okukeberebwa awamu n’okuzimba obulungi entaana ya kitaabwe kuba kati erabika bulungi nnyo