Amawulire

Poliisi ekutte abantu 9 abagambibwa okubeera ababbi ba Piki-piki eziwerera ddala 80

NGA poliisi egenda mu maaso n'okulwanyisa obubbi bwa pikipiki, eriko abantu abalala 9 b'ekutte ne boda boda ezigambibwa okuba enzibe 80 ne bazizuula.   

Poliisi ekutte abantu 9 abagambibwa okubeera ababbi ba Piki-piki eziwerera ddala 80
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

NGA poliisi egenda mu maaso n'okulwanyisa obubbi bwa pikipiki, eriko abantu abalala 9 b'ekutte ne boda boda ezigambibwa okuba enzibe 80 ne bazizuula.

Ekikwekweto, kino, kikoleddwa mu bitundu bya Munaku zooni mu muluka gw'e Lubya e Rubaga mu Kampala.

Kyadiridde okugenda mu parking mu kitundu ekyo, mu kusooka mwe baazudde pikipiki bbiri ezigambibwa okweyambisibwa mu bubbi e Muyenga, era ne kizuulibwa nti parking y'emu , bagyeyambisa okukwekamu pikipiki enzibe n'ezo ezikozesebwa mu bunyazi.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti poliisi ya Old Kampala, ekyagenda mu maaso n'okuzuula ekituufu ku nsonga eyo era ne bayita oyo yenna gwe babbako piki ,okugenda ku poliisi azuule oba kuliko eyiye

Tags: