ABANTU 20 abagambibwa okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka e Kakindu mu Mityana district, bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi.
Abakwate bonna, batwaliddwa ku poliisi y'e Mityana ng'okubasunsulamu, kugenda mu maaso.

Abamu ku baakwatiddwa
Mu kikwekweto kino, abasirikale bazuuliddemu enjaga ewerako, ebyuma ebyeyambisibwa okumenya amayumba, amayirungi, n'ebintu ebirowoozebwa okubeera ebibbe.
Kidiridde okwemulunya kw'abatuuze ku bubbi bw'amasimu, obusawo, okubba ebisolo, okubayingirira mu mayumba n'okubabbako pikipiki .

Abamu ku bakwatiddwa
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti , ebikwekweto bikyagenda mu maaso okulwanyisa obumenyi bw'amateeka era ng'abakwatiddwa, bakubatwala mu kkooti ku misango egy'enjawulo.
Kigozi era alabudde abatuuze okukomya okutaataganya poliisi ng'ekola emirimu gyayo nti kuba guba musango era baliko bangi be bazze bakwata.