Amawulire

Abagambibwa okubba Piki-piki mu kizimba kya Shamba Complex bakwatiddwa

POLIISI mu Kampala,  ekutte abantu babiri abagambibwa okubba pikipiki okuva ku kizimbe kya Shamba Complex ku Kyaggwe road.

Ezimu ku piki-piki
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

POLIISI mu Kampala,  ekutte abantu babiri abagambibwa okubba pikipiki okuva ku kizimbe kya Shamba Complex ku Kyaggwe road.

Ababiri bano, kigambibwa nti babadde batambulira ku pikipiki nnamba UFX 998T nti ate ne babba pikipiki endala nnamba UEA 094J nti kyokka ne basobola okubawondera ne babakwata ne pikipiki zombi.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Recheal Kawala, agambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso.

Ayongeddeko nti ebikwekweto ebyakoleddwa ku Arua Park  ne ku bitaala bya High court mu Kampala, bayodde 40.

e Kyaliwajjjala bakutte 6, mu zooni ya Bbeesi ne Katende e Katwe 1, bayodde 42 ate ng'e Nsangi mu Nakati, poliisi ekutte nnyini washing bay Bruhan Sebunnya abadde ayiggibwa , oluvannyuma lw'okuzuula pikipiki 44 ezigambibwa okuba enzibe mu kifo ekyo.

Tags: