Amawulire

Akakiiko kamalirizza entegeka z’okulonda kwa LC1

AKAKIIKO k’ebyokulonda kalangirira leero enteekateeka ezigenda okugobererwa mu kulonda obukiiko bw’ebyalo n’obwabakyala okwetolola eggwanga.

Abantu nga basimbye ennyiriri okulonda mu 2018
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

AKAKIIKO k’ebyokulonda kalangirira leero enteekateeka ezigenda okugobererwa mu kulonda obukiiko bw’ebyalo n’obwabakyala okwetolola eggwanga.
Kiddiridde Gavumenti okufulumya ssente obuwumbi 56 okuva mu ggwanika wiiki ewedde ne ziwebwa akakiiko k’ebyokulonda okutegeka amangu okulonda abakulembeze ku byaalo. Okulonda kusuubirwa mu byaalo ebiwera 71,250 mu ggwanga. Okulonda kwaali kusuubira mu April w’omwaka guno akakiiko ne kongezzaayo nga tekalina ssente.

Omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda, Richard Kamugisha yakakasizza bannamawulire nti ssente baazifunye era abakulu mu kakiiko k’ebyokulonda batuula leero balangirire ennaku z’okulonderako. Okulonda kw’obukiiko buno okwasembayo kwaliwo mu 2018 kyokka ekisanja kyabwe kyaggwaako mu 2023.
Ekisanja ky’abakulembeze ku byaalo kiba kya myaka essatu era okuva 2023, Palamenti ezze esaba okwongerayo okutuuka Gavumenti lw’efunye ssente obuwumbi 56. Akakiiko k’ebyokulonda kasuubirwa okuwandiisa abagenda okuyambako mu kulondesa abakozi 142,500 n’abagenda okuyambako okuteekateeka akalulu kano mu byalo 71,250 okwetoloola eggwanga.
Abakozi bano be bagenda okukola emirimu omuli okutimba enkalala, okukakasa abalonzi, okulondesa, okulangirira ebivudde mu kulonda ku kyalo, n’emirimu emirala. Gye buvuddeko ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama yategeeza nti abawulira abantu abamu nga bagamba nti ssente ze baasaba nnyingi ng’ate okulonda kwakusimba mu mugongo.Yagamba nti olunaku okulonda lwe kubaayo, si lwe kuba kwatandise, wabula waliwo emirimu gye basooka okukola ku byaalo omuli okusasula abakozi, okukubisa enkalala z’abalonzi, okutambula, n’ebirala bingi. Abakozi abanaakola mu kalulu kano basuubirwa okuwandiikibwa ekiseera kyonna n’akakiiko kalangirire ennaku z’okulonda essaawa yonna

Tags: