Ekirombe kya zzaabu kibuutikidde abantu abawerako ababadde basima, era nga mu kiseera kino poliisi yaakaggyayo emirambo esatu n'akyali omulamu omu.

Ekirombe ekyaggaddwa.
Kiggaddwa era nga poliisi n'abantu baabulijjo bakyakola butaweera okuzuula abalala abakyawagamidde wansi nga balamu.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East , Micheal Kasadha, agambye nti, ekirombe bakiggaddewo ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.