Amawulire

Poliisi ekutte omuvubuka eyatutte omwana w'essomero atanneetuuka mu loogi

Bano, kigambibwa nti  baabakwatidde mu Gofrex Guest House mu Nyendo, oluvannyuma lw'abatuuze okutemya ku poliisi nga balabye akawala kano , nga bakayingiza mu loogi.

Poliisi ekutte omuvubuka eyatutte omwana w'essomero atanneetuuka mu loogi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI mu Nyendo e Masaka, ekutte omuvubuka ow'emyaka 20 agambibwa okutwala omwana w'essomero atanneetuuka mu loogi.

Bano, kigambibwa nti  baabakwatidde mu Gofrex Guest House mu Nyendo, oluvannyuma lw'abatuuze okutemya ku poliisi nga balabye akawala kano , nga bakayingiza mu loogi.

Mu kusooka, omuwala yategeezezza poliisi nti wa myaka 17, oluvannyuma n'agamba nti 18, nti kyokka bwe bamubuuzizza omwaka gw'obuzaale bwe, ng'atamattama nti era okukakkana nga yeetemye engaliko nti wa myaka 15.

Twaha Kasirye, omwogezi wa poliisi e Masaka, agambye nti , akwatiddwa ye Nathan Rwamwojo 20, nga mutuuze w'e Rushuru mu ggombolola y'e Ntuusi e Ssembabule. Okubuuliriza n'okuzuula ekituufu, kugenda mu maaso. Avumiridde ekikolwa ky'abassedduvutto , abakabassanya abaana abatanneetuuka.

Tags:
Loogi
Muvubuka
Ssomero
Kukwata