Amawulire

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira ebyemizannyo

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okujjumbira ebyemizannyo n'ókuwagira abatandisi baagyo okusobola okukulaakulanya ebitundu ebyenjawulo emizannyo gino gye gibeera gitegekeddwa.

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira ebyemizannyo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okujjumbira ennyo ebyemizanyo n'ókuwagira abatandisi baagyo okusobola okukulaakulanya ebitundu ebyenjawulo emizannyo gino gye gibeera gitegekeddwa.

Bino byogeddwa Anthony Kibe okuva mu Britam Uganda nga bano be bamu ku bavujjirizi b'émisinde gya Tusker Lite Rwenzori Marathon egy'ómulundi 5 egigenda okuddukibwa e Kaseese nga August 22, 2026.

Kibe yagambye nti ng'aba Britam bavuddeyo okuvujjirira emisinde gino n'obukadde 100 kubanga e Kasese gye giddukibwa gikyusa ebintu bingi omuli n'ókwongeza ebyobulambuzi eggwanga ne liyingiza ku ssente eziwerera ddala.

Kuno gattako n'okuwa abantu emirimu abawangaalira mu kitundu kino okuli abafumba emmere, ebisulo abantu bano gye basula n'abantu abalala abagenda okwenogera ssente mu misinde gino.

Amos Wekesa omu ku bateesiteesi b'emisinde gino yategeezezza nti balina enkolagana ennungi ne kkampuni ezaamaanyi kubanga kibayambyeko okukuza emisinde gyabwe okutuuka ku mutendera gw'ensi yonna nga kati emisinde egigenda okubeera e Kasese gyakugobererwa amawanga munsi yonna.

Emisinde gino gyamulundi gwa 5 era gigenda kuddukibwa e Kasese nga August 22, 2026 ng'ábaddusi 8,000 be basuubirwa okwenyigira mu misinde gino okuva mu mawanga 20.

Tags: