OMUWALA agambibwa okumenya enju emisana ttuku n'abbamu ttivvi n'ekigendererwa ky'okugitunda okuggyamu olubuto muganzi we lwe yamulekera ng'agenda ku kyeyo ensi eyongedde okumuddugalirira, bw’akwatiddwa lubona naye katono bamugajambule era poliisi y'emutaasizza.

Namutebi gwe baakutte ne ttivvi ng'ali ku poliisi n'abavubuka abalala 2 be yalonkomye.
John Mukasa gwe babbye yagambye nti bwe yabadde ku kawooteeri w’aliira yalabye omuwala ayitawo asitudde ttivvi wabula omutima ne gumukubamu era n'amwekengera.
Mukasa yategeezezza nti yasitukiddemu agende okulaba mu nju ye si kuba ng'eyiye y'erugenda. Okutuuka w'asula ng'eddirisa likooneddwa bazzizzaawo bulungi kyokka nga ttivvi ye teriimu.
Agamba amangu ago yalinnye bodaboda okudda mu bitundu by'e Busega eyavudde okumpi ne gye basula eyabadde akaalakaala ne ttivvi.
Mukasa agamba naye yagirinnye sipiidi ya kimyanso n’amusanga ku ngulungo y'e Busega ayolekera Nateete era ne bamuyimiriza mbagirawo. Wano abaabaddewo kata bamugajambule kyokka n'ataasibwa.

Poliisi ng'etwala Namutebi
Mukasa yamuwazeewaze n'amukomyawo ku kitundu n'amusaba ssente ze yabadde agenze ne ttivvi ye omutwalo gwa Uganda kw’ossa ez’okuzzaawo eddirisa lya Landiroodi nga tazirina.
Olukiiko lw'ebyokwerinda olwakulembeddwa Leo Ssentongo, baakutte Namutebi ne bamukaka waakiri akubire ku b’amanyi bamutaase okusasula ne baggukira ku nnamba ya Swaib Kalungi gye yabadde yaakasembayo okukubako.
Ono baamulimbye nti Namutebi agudde ku kabenje n'ajja za mbwa. Yamusanze ku poliisi y'e Namungoona naye n'akwatibwa kwossa n'eyabadde amuvuga ku Pikipiki Bashir Lubuuka be baasuubirizza nti baabadde mu kkobaane.
Ono era yabadde n'ebyuma nga sipaana kw’ossa obuuma obulala bwe yabadde atadde mu kakooti newankubadde yeeyogeddeko ng'omutabuzi w'enkokoto abaserikale ne beebuuza bino bye yabadde nabyo engeri gye bikwataganamu n'omulimu gw'akola.
Namutebi yakkirizza eky'okubba era n'alaga n'engeri gye yakozesezzaamu akawaya okusumulula ekinyolo ky'omunda kyokka n'agamba kino yakikoze kwetaasa kwagala kuggyamu lubuto lwa myezi etaano bba lwe yamulekera ng'agenda ku kyeyo.
Yagambye nti gwe gusoose okubba kyokka amangu Kalungi n'amwambalira nti ono okubba yagufuula mulimu kuba naye nga bakyayagalana yaleka ayodde kumpi nju ye kugikaliza.
Kalungi yategeezezza poliisi nti Namutebi alina omuze nti yeezira musajja amukwanye kumulaga w'asula, olwo eby'omunju aba ajjakubisiba byonna abimalemu.
Bano oluvannyuma baatwaliddwa ku Poliisi ya Old Kampala gye baakoledde sitaatimenti ne baggulibwako ogw'okumenya enju ne babba ku ffayiro SD Ref, 68/17/08/026 nga basuubirwa kugasimbagana na mulamuzi kubitebya.