SSAABADDINKONI w’e Kazo Venerable Canon Emmanuel Ssewanyana atabukidde gavumenti olw’ebikwekweto by’ekola okukwata abakulira amasomero ga gavumenti naddala agali ku musingi gw’ekkanisa nga babalanga okusasuza abaana fiizi ky’agamba nti si kyabwenkanya.
Ssewanyana era avumiridde engeri eweebula abakulira amasomero gye bakwatibwamu n’asaba kino kikyusibwe kuba kisiiga ekifaananyi ekibi eri abaana.
Ye RDC wa Nansana, Charles Lwanga wano w’asinzidde n’akinogaanya nga bwe batagenda kuttira ku muntu yenna ku liiso asasuza abaana mu masomero ga gavumenti nti yenna anaakwatibwa waakuvunanibwa.
Ate minista w’ensonga za Kampala, Hajjati Minsa Kabanda wano wajjukiriza abazadde okutwala obuvunaanyizibwa bwabwe eri abaana nga babafunira ekyokulya.
Bo abatuuze nga bakulembeddwa Mmande Lawrence basiimye balaza eno kyokka n’abasaba okuteekesa mu nkola ebiragiro by’okulondoola pulojekiti za gavumenti ne yennyamira olw’obutaweebwa mukisa kwogera bibaluma nga abatuuze.