Amawulire

Ababadde ku mulimu gw'okumenya enju bagisanzeemu emmundu enkadde ne basattira!

ABANTU  ababadde ku mulimu gw'okumenya ennyumba enkadde e Kijabijo cell mu muluka gwa Kimwanyi e Kira munisipaali , bagudde ku mmundu ekika kya AK 47 nga yalekebwa mu kizimbe ekyo.

Ababadde ku mulimu gw'okumenya enju bagisanzeemu emmundu enkadde ne basattira!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU  ababadde ku mulimu gw'okumenya ennyumba enkadde e Kijabijo cell mu muluka gwa Kimwanyi e Kira munisipaali , bagudde ku mmundu ekika kya AK 47 nga yalekebwa mu kizimbe ekyo.

Emmundu omubadde amasasi,  eggyiddwawo poliisi y'e Kasangati n'etwalibwa abakugu okugyekebejja  okuzuula ekitongole mwe yava, ne b’ani abaagirekamu.

Kigambibwa nti omu ku bantu, abaali babeera mu nnyumba eyo, baamukwata ku bigambibwa nti y'omu ku abo, abaakuba owa Mobile Money amasasi e Ntinda ne bamunyagako ssente mu 2024.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Racheal  Kawala, agambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
AK47
Mmundu
Bukuumi