ABAJAASI ba UPDF 19 abali ku ddaala lya Genero bawummudde amagye ng’omukolo ogw’okubawummuza gwabadde mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe ku Lwokuna.
Ku mukolo guno, Pulezidenti Museveni yabakuutidde obutateeka ssente zaabwe ez’akasiimo mu bulunzi bw’ebyennyanja, wabula baziteeke mu bintu ebivaamu amagoba oba bazireke mu bbanka zizaale amagoba.
Mu baawummudde mwe muli ne Gen. Katumba Wamala nga mu kiseera kino ye minisita w’abakozi, Lt. Gen. Charles Angina, Lt. Gen. Charles Awany Otema, Maj. Gen. Tumusiime Katsigazi, Maj. Gen. Abel Kandiho n’abalala.
Omukolo gw’okubawummuza gwetabiddwaako minisita w’ebyokwerinda, Kiryowa Kiwanuka, omumyuka w’akulira amagye ga UPDF, Lt. Sam Okiding n’abalala.
Yagambye nti, basobodde okulwanyisa enkola y’obusosoze mu mawanga kubanga kye kimu ku byaleeta obutabanguko mu mawanga nga Somalia.
Gen. Katumba Wamala eyayogedde ku lwa banne abaawummudde yasiimye Pulezidenti Museveni olw’amaanyi g’atadde mu kuzimba eggye lya UPDF n’agamba nti we baayingirira amagye nga paleedi bazikola bambadde gumboots wabula kati abajaasi bambala engatto ez’ebbeeyi ne banyuma.
Gen. Katumba yasabye abajaasi abakyaweereza okukuuma ekitiibwa kya UPDF nga batumbula enkola ya mwoyo gwa ggwanga era basse ekitiibwa mu bantu ba bulijjo.
Yasabye banne abawummudde obutakoma kukolera ggwanga ate baleme kuziika ebyo bye
bayize mu ggye lino. Ye minisita Kiryowa Kiwanuka yategeezezza nga Uganda bw’erina emirembe olw’obuweereza bw’abajaasi bano abawummudde n’abasaba
obutalekerera okuweereza eggwanga.
Amyuka omuduumizi wa UPDF, Lt. Gen. Sam Okiding yasabye abawummudde okwewala abawi b’amagezi eyo gye balaga olw’okuba bamanyi nti waliyo akasente akabaweereddwa ak’akasiimo wabula bo nga UPDF balina abakugu okuva mu bbanka ez’enjawulo be bakwataganye nabo okulaba ng’ensimbi zino baziteekerateekera bulungi n’okubawaako okuwabulwa.
Oluvannyuma minisita Kiryowa Kiwanuka yakulembeddemu abaawummudde ne bakumba okufuluma amaka g’Obwapulezidenti wakati mu kuyimba ennyimba ze baayimbanga mu ntalo.