EMBEERA ya kiyongobero wano mu maka awagenda okuziikibwa mutabani wa Hajji Nadduli, Sulaiman Jakana Nadduli ku kyalo Kaddunda mu muluka gw’e Kaddunda e Kapeeka mu disitulikiti y’e Nakaseke.

Abasima entaana omugenda okuziikibwa omugenzi Jakana Sulaiman Nadduli.
Jakana afudde ekiro ekikeesezza olunaku lwa leero era waakuziikibwa ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo.

Abakungubazi baatuuse dda.

Abamu ku bannaddiini baatuuse dda awagenda okuziikibwa omugenzi.

Abakungubazi mu tenti.