Ebifaananyi

Okukozesa tekinologiya kiyambye aba RiyoChick okukekkereza ku kujjanjaba enkoko

BW’OTUUKA ku ffaamu ya Riyochick (U) Ltd, olagirwa okunaaba n’osooka olowooza nti, bya kusaaga okutuusa lw’olaba nga buli ayingira ennyumba z’enkoko okutandikira ku bakozi ne bannannyini ffaamu bayingira ekinaabiro.

Abakozi ba RiyoChick nga balonda amagi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BW’OTUUKA ku ffaamu ya Riyochick (U) Ltd, olagirwa okunaaba n’osooka olowooza nti, bya kusaaga okutuusa lw’olaba nga buli ayingira ennyumba z’enkoko okutandikira ku bakozi ne bannannyini ffaamu bayingira ekinaabiro.
Twasoose kunaaba olwo ne batuwa engoye endala, engatto n’obugoye obubikka ku mutwe ate n’oluvannyuma ne tuweebwa sanitayiza okukakasa nga tewali buwuka obuyinza okulwaza enkoko bw’oyingira nabwo singa obeera okkiriziddwa okuyingira kuba nagwo mukisa gwa njawulo.

Dr. Ali Abdullahi Sugaal akulira Riyochick (U) Ltd, agamba nti, ku ffaamu eno bafuba okulaba nga bakugira eddagala okukosa abantu okuva mu nkoko n’okwetangira obulwadde okwewala okukozesa okujjanjaba enkoko zaabwe okukakasa nga bafulumya amagi agataliimu ddagala lirwaza bagalya ate n’okukendeeza ensaasaanya y’okugula eddagala ly’okujjanjaba enkoko singa ziba zirwadde.
Ffaamu eno esangibwa Busunju mu disitulikiti y’e Mityana ng’eriko enkoko 100,000 nga yatandikibwa abantu bana abalina obukugu obw’enjawulo abakkiriziganya okutandika okulunda.
Empaka z’Omulimi Asinga zitegekebwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde okuyita mu New Vision Foundation mu pulogulaamu ya Vision Initiative for Sustainable Agriculture (VISA) ng’ekolaganira wamu n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne zissibwamu ssente bbanka ya dfcu, kkampuni ya Koudijs n’eya Royal Dutch Airlines.
TEKINOLOGIYA
Enkoko ku ffaamu eno bazikuumira mu katimba / keegi akali ku mutendera gw’ensi yonna nga tewali kintu kyonna kikwatibwako okuli emmere etambuzibwa ku njegere, amazzi agatambulira mu mpiira n’amagi agatambuzibwa enjegere okutuuka mu kasenge abakozi we bagalondera okugassa mu ttule.
Sugaal agamba nti, tekinologiya ono abayamba okukendeeza emirundi abantu gye bakwata oba okutuuka ku nkoko nga kino kikendeeza okusaasaanya kw’endwadde eziva ku bantu okukwata enkoko.
“Bizinensi y’okulunda evuddeku mutendera gw’okugezesa nga leero kikulu okubeera ne tekinologiya agenda okukuyamba okukendeeza ensaasaanya ku ddagala, emmere n’ebirala olwo n’okola amagoba,” Sugaal bw’agamba.
OKUTANDIKA FFAAMU
Sugaal agamba nti, ffaamu eno ya bamikwano bana abalina obwagazi mu kulunda abaasalawo okutandika ffaamu y’okulunda enkoko mu 2023 olwo ffaamu n’etandikibwawo mu 2024.
“Olw’okuba twali tumanyi okusoomoozebwa kw’obulwadde n’ebizibu ebirala ebiri mu kulunda enkoko mu Uganda, twasalawo okusooka okunoonyereza ku nkola ne tekinologiya gye tusobola okukozesa mu ffaamu yaffe okubyewala,” Sugaal bw’agamba.
OKULABIRIRA ENKOKO
Tekinologiya ono atuyamba okwewala okukozesa eddagala okujjanjaba enkoko ekikendeeza ssente z’okugula eddagala.
Ffaamu erina akasenge awali amapeesa n’ebyuma ebikwataganya ebyetaagisa byonna ku ffaamu okuli; emmere, amazzi, okulonda amagi, amasannyalaze, amataala, empewo n’ebirala.
“Tukwataganya obungi bw’emmere, amazzi n’ebirala olwo buli nkoko n’esobola okufuna obungi bw’emmere n’amazzi ebimala olwo ne zifuna enkula efaanagana mu bunene, obulamu n’okubiika,” Sugaal bw’agamba.
Olw’okuba enkoko zifuna eby’okulya ebifaanagana, zibiika amagi agenkana olwo akatale ne kabeera kalungi kuba buli kasitoma abeera agayaayaanira.
Mu ngeri y’emu, olw’okuba emmere etwala ebitundu 70 ku 100 eby’ensaasaanya ya ffaamu, bafuna ebirungo eby’enjawulo ne beekolera emmere nga beeyambisa akalungo ka Hendrix akakolebwa kkampuni ya Tunga Nutrition.
Kino kibawa obukakafu bw’omutindo gw’emmerte y’enkoko zaabwe kuba beefulumiza emmere. Bagula ebikozesebwa nga kasooli, soya n’ebirala okulaba nga bafulumya emmere esinga obulungi gye baliisa enkoko zaabwe.
Brighton Rwothomio, akulira ekkolero ly’emmere agamba nti, bwe bamala okufuna ebirungo by’emmere, basooka kubikebera bulungi okukakasa nti, bya mutindo.
Olw’okuba enkoko zeetaaga ebirungo eby’enjawulo ku buli mutendera, beegendereza omutindo n’obungi gw’ebirungo okukakasa ng’enkoko zikulira ku misinde egyetaagisa.
AKATALE
Sugaal agamba nti, okuva mu nkoko 100,000 basobola okufuna ttule z’amagi eziwerera ddala ate olw’omutindo gw’amagi, akatale kagazi okwetooloola eggwanga okutwala amagi gonna nga bwe bagafulumya.
“Olw’obulungi bw’amagi ge tufulumya, tulina akatale kanene ddala abagagula ebiseera ebisinga be batusindikira abaguzi abalala. Tulina akatale mu Uganda n’ebweru w’eggwanga,” Sugaal bw’agamba.
ABAKOZI
Olw’okuba emirimu gy’okulabirira enkoko ku ffaamu eno egisinga gikolebwa byuma, Sugaal agamba nti, balina kumpi abakozi 20 ku 100, ffaamu eriko enkoko 100,000 be yandibadde nabo.
“Balina ennyumba z’enkoko ssatu nga buli emu erimu enkoko 30,000 okutwaliza awamu ezirabirirwa abakozi basatu n’ababakulira. Bano basasulwa omusaala gw’omwezi ne bagattirwako ensako ya buli lunaku, okujjanjabibwa, okuliisibwa n’okusuzibwa,” Sugaal bw’agamba.
OKUYAMBA EKITUNDU
Sugaal agamba nti, ng’oggyeeko okuwa abantu mu kitundu ssente kubanga abakozi ba ku kyalo, babawa amagi ekibayamba
okukyusa obulamu bwabwe. Mu ngeri y’emu, ebikozesebwa mu kukola emmere nga soya, kasooli n’ebirala byonna bigulibwa ku batuuze b’omu kitundu.
Abatuuze era baabaleetera amazzi ag’obwereere okutaasa ekitundu ku kizibu ky’amazzi ekyaliwo kw’ossa okutambuza amasannyalaze okugatuusa ku ffaamu olwo abantu we gayita nabo ne bayingiza mu mayumba gaabwe.
ENKWATA YA KASASIRO
Kalimbwe ye kasasiro asinga okufulumizibwa ku ffaamu eno. Sugaal agamba nti, ebyuma ebikozesebwa ku ffaamu eno, bifulumya empewo ey’amaanyi ereetera kalimbwe ono okukamuka n’akala mangu ne bamuguza abalimi nga ekigimusa eky’obutonde, era bangi abamuyaayaanira okumussa mu misiri gy’emmwaanyi, ensuku, enva endiirwa, n’ebirala,” Sugaal bw’agamba.
OKUSOOMOOZEBWA
l Sugaal agamba nti, balina akatale kagazi wabula balemesebwa okutuuka ku bakasitoma baabwe olw’obutabeera na ssente zisobozesa kwongera kugaziya kuba balina enteekateeka y’okutuuka mu nkoko nga 250,000.
l Okufuna abakozi abatendeke obulungi okusobola okutwala mu maaso obulunzi bw’enkoko nga bizinensi.
EBISEERA EBY’OMU MAASO
Sugaal agamba nti, baagala okuzimba RiyoChick okubeera ffaamu y’enkoko esinga obunene n’okufulumya amagi ag’omutindo mu kitundu ky’Obuvanjuba bw’Afrika ate n’olukalu lw’Afrika lwonna okutwaliza awamu.

Tags: