Pulezidenti wa Uganda Olympic Committee (UOC), Dr. Donald Rukare asabye abazadde okujjumbiza abaana baabwe omuzannyo gwa gymnastics nti gwe gumu ku gisingamu ssente ennaku zino.
Yabadde ku mpaka za ‘Gymnastics For All’ ku Old Kampala Arena ku Lwokuna nga Uganda ekuza Ameefuga agemyaka 63 ezaabaddemu ttiimu 10 ez’abato n’abakulu.
“Gymnastics takoma kuyamba kugonza mibiri naye kati alimu ssente nnyingi nnyo nga omupiira, ebikonde, emisinde, ttena n’emirala. Mbasaba mumujjumbize abaana bammwe bajja kuyoola ssente,” Dr. Rukare bwe yakunze abantu.
Yawagiddwa agukulira, Harriet Ayaa eyeeyamye nti agenda kugusaasaanya Uganda yonna. Artistic Family, eyakoze ennyo obukolomooni, ye yawangudde ez’abakulu ate Legacy Holders n’ewangula ez’abavubuka. Yaddiriddwa St. Joseph’s SS Naggalama.