Bategese emisinde egiruubira okusomesa Bannayuganda obukulu bw'ebinyonyi

EKIBIINA ekirwanirira eddembe ly’ebinyonyi ekya Avian Conservation Uganda bategeseewo emisinde egiruubira okusomesa Bannayuganda obukulu bw’ebitonde bino n’ensolo z’omu nsiko.

By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo #Misinde #Binyonyi #Kutegeka

EKIBIINA ekirwanirira eddembe ly’ebinyonyi ekya Avian Conservation Uganda bategeseewo emisinde egiruubira okusomesa Bannayuganda obukulu bw’ebitonde bino n’ensolo z’omu nsiko.

Emisinde gino egya kiromita 10, gyakubaawo ku Ssande nga October 19 nga gyakusimbulwa mu bimuli bya Sheraton Hotel mu Kampala okusinziira ku mukwanaganya waagyo, Allan Matsiko. 

Giri ku mulamwa ‘Bird-Guard Uganda’.