Ebyemizannyo

Uganda etwala 18 mu mpaka za Chess ez'abamusaayimuto e Zimbabwe

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa chess mu ggwanga ekya Uganda Chess Federation (UCF) kiggumizza ekibinja kyabamusaayimuto abagenda okukiikirira eggwanga mu mpaka za chess wabamusaayimuto mu ggwanga lya Zimbabwe oluvannyuma lwokwongeramu bamusaayimuto abalala babiri okuweza omuwendo gwabazanyi 18.

okuva ku kkono patrick Ojok akulembeddemu ekibinja, suhana Anil Yadav, Daniel Odokonyero, nabalala
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa chess mu ggwanga ekya Uganda Chess Federation (UCF) kiggumizza ekibinja kyabamusaayimuto abagenda okukiikirira eggwanga mu mpaka za chess wabamusaayimuto mu ggwanga lya Zimbabwe oluvannyuma lwokwongeramu bamusaayimuto abalala babiri okuweza omuwendo gwabazanyi 18.

Daniel odokonyero (ku kkono), Ivan Wabwire (wakati) ne Alvin Muhiirwa abagenda e zimbabwe

Daniel odokonyero (ku kkono), Ivan Wabwire (wakati) ne Alvin Muhiirwa abagenda e zimbabwe


Daniel Odokonyero ne Apollo Muhumuza bebongeddwa ku bazanyi 16 abasooka okulangirirwa.
Odokonyero okutuuka okuyitibwa kyaddirira okuwangulira Uganda omudaali gwa Feeza mu mpaka za Chess wamassomero owabaana abali wansi w’emyaka 14 mu kibuga Mombasa ekya Kenya ku ntandikwa y’omwaka guno.
Ye Ahumuza azze ateekawo ebyafaayo mu mpaka za liigi yeggwanga zazze yeetabamu emyezi egiyise. Yalondebwa nga eyasinga mu mutendera gwabamusaayimuto mu liigi yeggwanga oluvannyuma lwokuwangula omudaali ogwa Zaabu. Nga tanawangula bino yasooka kumalira mu kifo ekyokubiri mu mpaka za Zabasajja memorial saako okuwangula empaka za Rwabushenyi memorial nga zonna zaategekebwa ekibina kya UCF. 
Omutendesi wabamusaayimuto bano Patrick Mukasa naye yaweereddwa tiketi okutambula nekibinja kya tiimu ya Uganda. Mukasa yagenda okukola nga omutendesi wabaana bano era akole nga omuzadde waabwe.

Juliet Asaba nga azannya chess

Juliet Asaba nga azannya chess


Abamu ku bagenda ye nnantameggwa wabamusaayimuto mu bawala Sana Kayyar Ompprakash agenda okwetaba mu mpaka ezabali wansi wemyaka 18, nantameggwa wempaka zamassomero mu 2021 Edwin Pido, nantameggwa womwaka guno owempaka zamassomero ga Africa Juliet Asaba ne Elvis Tumusiime eyawangula omudaali gwa feeza mu mpaka zamassomero omwaka guno. 
Abalala kuliko Ronald Wabwire, Suhana Anil Yadav, Dasha Zalwango, Sankara Oyang ne Shoubhith Omprakash Kayyar agenda okwetaba mu mutendera gwabali wansi wemyaka 16.
Abalala ye Samora Atubo, Aaron Kagoda Mugisha, Garry Noah Bigisha, Sean Mulema Wavamunno, Ssengero Ernest Kiggundu, Anabel Mawerere Kirabo ne Psalm Nicole Tamale, abagenda okuvuganya mu mutendera gwabali wansi wemyaka 8 nemyaka 12.

Aaron Kagoda nga azannya chess

Aaron Kagoda nga azannya chess


Uganda era etutte musaayimuto Talia Gladys Atubet eyawangulira Uganda omudaali ogwekikomo mu mpaka z’omwaka oguwedde ezaali e South Africa. Atubet waakuvuganya mu mutendera gwabali wansi wemyaka 10.
Eng. Patrick Ojok agenda okukulemberamu ekibinja kya Uganda mugumu nekibinja ekisindikiddwa olwa foomu gyebabaddeko mu mpaka zebasembyeyo okwetabamu. “abavubuka bonna betulonze twasoose kwetegereza maanyi gaabwe wegali era ndi mukakafu nti ku mulundi guno tukomawo nemidaali egiwerako” ojok bweyagambye.
Omuwendo gwamawanga 17 geegamaze okukakasa okwetaba mu mpaka zomwaka guno ezomulundi ogwe 16 ezitandika ku Sunday eno mu kibuga Harare ekya Zimbabwe.