Tiimu z’amassomero ga Uganda zoolekedde China okwetaba mu mpaka za Volleyball w’ensi yonna
Ekibiina ekiddukanya emizannyo gy’amassomero ga siniya mu ggwanga ekya USSSA kisiibudde ekibinja kyabazanyi n’abakungu 33 okwolekera china gyebagenda okukiikirra eggwanga mu muzannyo gwa volleyball wamassomero ow’ensi yonna ezimanyiddwa nga ISF World Volleyball Championships.
Tiimu esiibuddwa erimu abazanyi 18 nabakungu 15 okuli abatendesi, abasawo, abalabirira abaana n’abakungu okuva mu gavumenti. Uganda egenda kukiikirirwa tiimu bbiri okuli eya International school n’essomero lya Mengo SS.
Bweyabadde asiibula abayizi kamisona mu ministry y’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo Rev. Can. Dr. Duncans Mugumya yajjukiza abakungu abagenze nabayizi okusooka okufa ku mbeera z’abazanyi abakyali abato mu myaka. “ nga Mugenda mu mizannyo mujjukire nti temugenze mwekka wabula mukiikiridde ggwanga lyonna, bano abaana b’eggwanga bemuba musooka okufaako nga ebirala tebinajja” Mugumya bweyagambye.
Mugumya era yatenderezza abekibiina kya USSSA olweddimu lyebakola ery’okuzuula n’okutumbuula ebitone byabayizi ekyongedde okuteeka Uganda mu bifo eby’okumwanjo mu by’emizannyo by’amassomero mu nsi yonna. “tukola bulungi mu byemizannyo byamassomero, kumpi buli mwaka tubaako n’ebitone ebyenjawulo byetuleeta era ekyo nkyebaliza USSSA”.
President wa USSSA Justus Mugisha yalaze engeri Uganda gyezze yeyongera okumanyika mu mizannyo gyamassomero mu nsi yonna. “Uganda mukadde kano tukwata kifo kyakumwanjo mu Africa mu mizannyo gyamassomero”. Mugisha yalangiridde nga ekibiina kya USSSA bwekigenda okugatta amassomero agali ku mutendera gwensi yonna gayite international schools mu mpaka ezitegekebwa USSSA oluvannyuma lwamassomero gano okuleetera Uganda emidaali egiwerako mu mizannyo gyamassomero ga siniya egya FEASSA egyawangulwa Uganda mu masekkati g’omwaka guno.
Ku mukolo guno akakiiko akalondoola enzirukanya y’emizannyo mu ggwanga aka National Council of Sports kaakiikiriddwa Milton Chebet eyakubirizza abazanyi okuwanika bendera ya Uganda mu bwengula.
Amyuka kamisona webyemizannyo mu ministry yebyenjigiriza nebyemizannyo Sammy Odong yeyalondeddwa okukulira ekibinja kya Uganda nga waakumyukibwa Douglas Kabwegyere.
Empaka zino ezigenda kumala ennaku 10 nga zitojjera zaakwetabwamu tiimu endala 18 ezaateereddwa mu bibinja ebyenjawulo. Mengo SS (Uganda 1) eri mu kibinja C ne Brazil, India 1, Nigeria ne Taiwan.
Uganda 2 eri mu kibinja D ne Bulgaria, Chile, Iran ne India 2.
Empaka zino zigenda kubeera mu kibuga Shangluo okuva nga ennaku zomwezi 4 okutuusa 13 omwezi guno.