Ebyemizannyo

Empaka za CECAFA eza bali wansi w'emyaka 15 ziggyibwako akawuwo olunaku lw'enkya

Olunaku lw'enkya empaka za CECAFA ezabali wansi wemyaka 15 ez'omulundi ogw'okuna zigenda kuggyibwako akawuuwo ku bisaawe ebyenjawulo okuli kitende ne kadiba. 

Justus Mugisha, President wa USSSA mu lukungaana lwa bannamawulire
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

CECAFA U15 
Mu bawala (enkya) 
Kenya ne Rwanda, 3:00
Ethiopia ne Djibouti, 4:00
Tanzania ne South Sudan, 5:00
Uganda ne Burundi, 6:00
Djibouti ne Tanzania, 7:00
Rwanda ne Uganda, 8:00  
Mu balenzi (enkya)
Burundi ne kenya, 3:00
South sudan ne Rwanda, 4:00
Tanzania ne Ethiopia, 5:00
Uganda ne Djibouti, 6:00
Kenya ne Uganda, 8:00
Rwanda ne Tanzania, 9:00        
Olunaku lw'enkya empaka za CECAFA ezabali wansi wemyaka 15 ez'omulundi ogw'okuna zigenda kuggyibwako akawuuwo ku bisaawe ebyenjawulo okuli kitende ne kadiba.
Empaka ezabawala zigenda kuzanyibwa ku kisaawe kyakadiba ekisangibwa e Mengo ate ezabalenzi zizanyibwe e kitende ku ssomero lya st.Marys.
Mu lukungaana lw'abannamawulire olutuuziddwa olwaleero abategesi b'empaka zino bakakasizza nga tiimu ezigenda okwetaba mu zomwaka guno bwezisigadde munana oluvannyuma lwa sudan ne Somalia okulemererwa okujja.
President wekibiina ekiddukanya emizannyo gyamassomero mu ggwanga ekya USSSA Justus Mugisha alaze ebiruubirirwa bya Uganda mu kwetaba mu mpaka ekika kino.
Emipiira 6 gyegigenda okuzanyibwa buli lunaku nga gitandika ku ssaawa ssatu ku bisaawe byombi.

Andrew Oryada omwogezi wa CECAFA mu lukungaana lwa bannamawulire

Andrew Oryada omwogezi wa CECAFA mu lukungaana lwa bannamawulire


Mu gwabawala kenya ne Rwanda bebasookawo nekuddako Ethiopia ne Djibouti.
Uganda egenda kuzannya emipiira ebiri nga ogusookawo gwa ssaawa mukaaka nga ettunka ne Burundi olwo ekomewo mu nsiike ku ssaawa Mwenda nga ettunka ne Rwanda.
Mu gwabalenzi Uganda yaakuggulawo ne Djibouti ku ssaawa mukaaga ate ku munana ekomewo mu nsiike ne Kenya.
Uganda yakiikiridde St. Mary’s Kitende mu balenzi ate mu bawala nekiikirirwa Kawempe Muslim.
Abategesi bakubirizza abawagizi bomupiira okweyiwa mu bisaawe okuwagira Uganda nga emipiira gyonna baakugirabira ku bwerere.
Omuwanguzi wempaka zino waakusitukira mu mitwalo gya doola kkumi ate owokubiri atwale emitwalo musanvu nekitundu eza doola.