WIIKI ewedde, Liverpool yalagiridde Andoni Iraola enzaalwa y'e Spain ng'omutendesi waayo omujjuvu. Baamuwadde endagaano ya myaka 2 ng'adda mu bigere bya Arne Slot eyabawangulira Premier mu sizoni ya 2024/25.
Mu kugobwa, Slot tebamuwadde nakadde kwetegeka kuba bakama be baabadde baakamukakasa nti waali sizoni ejja ate ne beekyusiza mu kiti ng'embazzi. Iraola 43, abadde atendeka Bournemouth ng'eno aba Liverpool gye yabakwatidde omugamba ne beegomba entendeka ye era ne basuubira nti ye muntu asobola okubagya mu ddubi mwe babadde sizoni ewedde katono baleme n'okukiika mu Champions League.
Yamalira mu kyakutaano. Sizoni ejja, agenda kubeera nzaalwa y'e Spain owookuna okutendeka ttiimu za Premier ennene. Yeegasse ku Mikel Arteta (Arsenal), Xabi Alonso (Chelsea) ne Unai Emery (Aston Villa). Yasinga kuzannyira Atletico Bilbao (2001-2015) gye yava okwegatta ku New York City eya Amerika gye yasanga Frank Lampard, Andrea Pirlo ne David Villa. Spain yagizannyira emipiira 7 (2008-2011). Ng'oggyeeko Bournemouth, Iraola atendeseeko AEK Larnaca, Mirandes ne Vallecano.
LWAKI BAAMUWADDE EMYAKA 2 GYOKKA Si nkola ya ttiimu za Premier okuwa omutendesi endagaano ennyimpi nga Iraola gye yafunye (myaka 2). Mu ttiimu zonna mwayise, abadde akkaanya ku ndagaano kikula bwe biti. Yategeezezza nti ekimutwaza endagaano y'emyaka 2 kya kubeera nti tamanyi kiba kigenda kubeerawo ate tayagala kusigala ku ttiimu nga ye n'abamutwala si basanyufu kuba ebintu bimanyi okwefuula.
LWAKI BAALONZE YE?
Wadde nga tatendekangako ttiimu nnene, okulonda Iraola, Liverpool yasinzidde ku bintu eby'enjawulo omuli: Entendeka ye; Iraola agamba omupiira gw'atendeka asinziira ku bukodyo bwe yakoppa ku Marcelo Bielsa, Ernesto Valverde ne Inigo Perez abaamutendekako. Omupiira gwe gulimu okunyigiriza omulabe aba Liverpool gwe basinga okwagala kuba mu biseera we babeeredde abaakabi' gwe babadde bazannyan wansi w'omutendesi Jurgen Klopp.
Mulungi mu kufuula abazannyi bassita; Milos Kerkez, Semenyo, Dean Huijsen, Ilya Zabarnyi, Dominic Solanke, Eli Junior Kroupi, Justin Kluivert bayitimuse nnyo wansi wa Iraola. Liverpool eyagala omutendesi asobola okubakolera bassita mwe basobola
okuggya ensimbi nga Klopp bwe yakola ng'agula abazannyi nga Mo Salah, Sadio Mane, Roberto Firmino, Andy Robertson n'abalala abataali bassita gye baali kyokka ne bayitimuka nga batuuse e Bungereza.
Amanyi okukuza abaana abato; Ku lunaku lwe olwasoose ku AXA Grounds aba Liverpool gye batendekerwa, Iraola yamaze ebbanga ng'alaba bamusaayimuto abaabadde batendekebwa nga Jayden Danns. Amaanyi ge gali nnyo mu baana abato kyokka ng'ebimu ku byagobezza Slot, kyabutalabawo baana ba akademi.
Amanyi Premier; Ayambye Bournemouth okumalira mu kyomukaaga n'agitwala ne mu mpaka za Bulaaya. Akaabizza ttiimu ennene ate ng'alina abazannyi abatamanyiddwa nga wano bagamba kaatuuse mu ttiimu erimu bassita gugenda kubula asala