Ebyemizannyo

KCCA Ereese ebiragiro ebikambwe ku bazannyi n’abatendesi

KCCA FC, eyakutte ekyokubiri mu liigi ate nga yasemba okugiwangula mu 2018, evudde mu kuliisa ebijanjaalo empiso n’ereeta ebiragiro ebikakali ku bazannyi n’abatendesi.

KCCA Ereese ebiragiro ebikambwe ku bazannyi n’abatendesi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KCCA FC, eyakutte ekyokubiri mu liigi ate nga yasemba okugiwangula mu 2018, evudde mu kuliisa ebijanjaalo empiso n’ereeta ebiragiro ebikakali ku bazannyi n’abatendesi.
Kiddiridde obutawangula kikopo kyonna sizoni ewedde, abakulembeze ba ttiimu ne bakizuula nti waaliwo ensobi ze balina okusalira amagezi mu bwangu.

Abakulira ttiimu eno, baabaze ekiwandiiko omuli kalonda yenna kwe bagenda okutambulira sizoni ejja.
Ebiragiro ebipya bye bino;
l Okukola ekintu kyonna olina okuba nga wakitegeeza bakamabo nga liigi tennatandika sso si kukibasuulako nga liigi egenda mu maaso. l Okukulembeza ebintu bya kiraabu nga ne bw’ofuna ekizibu oba olugendo obissa ku bbali.
l Okuwera emikolo; Tewali muzannyi oba omutendesi agenda kukola mukolo, okukyala oba embaga nga liigi tennaggwa. Sizoni ewedde, omu ku bakapiteeni ba ttiimu,
Herbert Achayi yakola embaga n'agenda n’abamu ku bazannyi ekyavaako Calvary okubakuba
(1-0), ogwabaggya ku liigi.
l Omutendesi tava ku mulimu; Omutendesi okutwalibwa ku ttiimu z’eggwanga,n okugenda ku misomo n’okukola obuvunaanyizibwa obulala obutali bwa kiraabu, tekikkirizibwa. Mu kutandika sizoni ewedde, omutendesi Brian Ssenyondo teyaliiwo ng’ali ne U17 mu World Cup e Qatar.
l Enkyukakyuka mu batendesi; Baakizudde nti okuwa abatendesi ababiri (Jackson Magera ne Ssenyondo) obuyinza obwenkana tekyakoze. Baasazeewo okufuulam Ssenyondo omutendesi omukulu nga y’alina obuyinza bwonna ku ttiimu. Magera yafuuse mumyuka. Ensonda zaategeezezza nti waliwo abaabadde baagalan baleete omutendesi Omuzungu kyokka boodi n’egaana nti kyetaagisa ssente nnyingi, okumusasula at’enga ayinza okuyiwa ttiimu abakake okugula abazannyi. Mu 2023, KCCA yaleeta Omuportugal, Sergio Traguil n’omumyuka we, Manuel Guerreiro ne bagoba abazannyi 13 okuleeta abapya kyokka

Tags: