Agamba nti pulojekiti gy’aliko ya nnyimba nnya kyokka ebbiri okuli: Labira ku nze ne Mukama abirimu zaawedde dda ng’ateekateeka kuzifulumya. Owoolugambo waffe atugambye nti wadde abayimbi bamaze emyaka ebiri nga bali ku muggalo, Mayinja alabika tali bubi kubanga ataddeko n’omubiri.

Mayinja ng'ali mu situdiyo

Mayinja ng'annyonnyola.
‘‘Kati nkubiriza buli muyimbi okukola nga bw’atereka ku ssente n’okwetegekera okumuyambako mu mbeera ng’eno gye tubaddemu kubanga bangi abataalina mirimu mirala bakoseddwa nnyo’’. Mayinja yasangiddwa mu bitundu by’e Lungujja mu situdiyo ya Krocth eyitibwa ‘Jib Studios’ gy’ali kati mu kukwata ennyimba ze empya ku ntambi.
Bw’omubuuza ku by’obufuzi agamba nti ebyo byaggwa ate byawulayawula nnyo mu bantu nga kati ategeka muziki kuddamu kuweereza abantu be. Mayinja y’omu ku baddayirekita ba Golden Productions.