AB’OLUGANDA, abayimbi ne mikwano gy’omuyimbi Jose Chameleone bamukulisizza okumaliriza emisomo ne bamwebaza n’okubeera omusajja omumalirivu.
Oluvannyuma lw’okuttikirwa eggulo Chameleone yakyaziza abamu ku bantu be ku kabaga akamuyozaayoza ke yategese mu makaage amapya ag’omu Akright ku lw'e Ntebe.

Chameleone Ng'ali Ne Bazadde Be
Taata we Gerald Mayanja omu ku baasinze okucamula abantu olw’emboozi ze yabadde amwogerako, yasoose kumwebaza olw’okukkiriza n'addayo okusoma nti kubanga yayagala nnyo okulaba nga bamutikidde kyokka nga ye yali yasalawo kukola birala.
Yagambye nti Chameleone kuva buto yali mugezi nnyo era nti eky’okuba ng’ebibuuzo abikuba budinda tekimwewuunyisa era n'amwebaza n’okusitula family yaabwe nga ba Mayanja.

Chamili Ng'agabula Joanita Kawalya keeki
Simo Omunene Owa Bukedde Ng'ayozayoza Chamili
Chameleone yagambye nti mu biseera by’omuggalo abalala nga beebase ye yasalawo okukolamu ebintu bibiri okuli okusoma wamu n’okumaliriza amaka ge ago.
Yasabye bayimbi banne ng’otwaliddemu ne baganda be nabo okuddayo okusoma olwo nno babeeko ekitiibwa ekirala kye bafuna naddala okuva mu bawagizi be.
Pallaso Ng'ayogera Ku Mukolo Gwa Chamili
Mikwano gye emirala okwabadde Moses Matovu, Joanita Kawalya, Simon Maseruka (Simo Omunene), Kaspat kwossa baganda be baamwebazizza olw’okuba n’omutima omulungi era nabo ne bamukulisa ebitabo.