Kasalabecca

Sipiika ayanukudde abeewuunya engeri gy'akomyewo amangu ng'abalongo tebannaweza mwezi

Yakkaatirizza nti byonna by’abadde ayaayaanira mu bulamu abifunye kuba yali abuzaayo balongo era kati mumativu eri omutonzi.

Sipiika ayanukudde abeewuunya engeri gy'akomyewo amangu ng'abalongo tebannaweza mwezi
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

SIPIIKA wa Palamenti ya Uganda, Anita Annet Among ayanukudde abeewuunya engeri gy’akomyewo amangu ku mulimu ng’abalongo be yazaala jjuuzi tebannaweza
mwezi. 

Among bwe yabadde akubiriza Palamenti eggulo, yagambye nti si tteeka, bannabyabufuzi okuweebwa olukusa okuwummulamu ku mirimu okugenda okuzaala n’oluvannyuma nga bamaze okusumulukuka nti era ye ky’avudde akomawo amangu. 

Yakkaatirizza nti byonna by’abadde ayaayaanira mu bulamu abifunye kuba yali abuzaayo balongo era kati mumativu eri omutonzi. Yasiimye abantu bonna abamuyozaayozezza
okufuuka nnaalongo omwabadde omukulembeze w’eggwanga ne maama Janet Kataha Museveni , Katikkiro wa Buganda, Peter Mayiga ne Bannayuganda abalala.

Tags:
Sipiika Among
Balongo
Mwezi
Kasalabecca
Kuzaala
Palamenti

Emboozi Ezifanagana