MARK Bugembe amanyiddwa nga Buchaman yeegasse ku Alien Skin.
Buchaman yaliko nfa nfe wa Bobi Wine (Robert Kyagulanyi Ssentamu) kati eyafuuka Pulezidenti w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya NUP.
Bwe baayawukana, Buchaman yeegatta ne ku NRM era mbu n’aweebwa n’ekifo.
Waliwo ebitambula nga Buchaman ne Alien Skin bwe bagenda okukola oluyimba bombi okunyweza enkolagana.