Kasalabecca

Ekiraamo kya Hustle Quin kitabudde Faaza

EKISAAWE ky’abazinyi mu Uganda kyaguddemu encukwe, olwa omu kun bannaabweamanyiddwa nga Hustle Quine okufiira mu kabenje mu bitundu by’ Bweyogerere.

Omugenzi Hustle Quine
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EKISAAWE ky’abazinyi mu Uganda kyaguddemu encukwe, olwa omu kun bannaabwe
amanyiddwa nga Hustle Quine okufiira mu kabenje mu bitundu by’ Bweyogerere. Kyokka waabaddewo katemba mu kuziika e Buikwe, Faaza eyabadde akulembeddemu

okusabira omugenzi bwe yeeyambuddemu ebyambalo ng’okuziika tekunnaggwa. Kyaddiridde abazinyi okuvaayo ne batandika okuzina ng’omulambo gw’omugenzi gukyali mu luggya ekyatabudde Faaza. Omu ku mikwano gy’omugenzi, Sharon Pink, yagambye nti omugenzi yali yalaama nti mu kuziika tebalina kwekubagiza era yalaamira Karole
Kasiita amuyimbire ne bazinyi banne bamuzinire. Ono agamba nti okuzina, baakutaddewo ng’okusaba kuwedde era baabadde baagala bwe bamaliriza, basitule omulambo bagutwale e magombe. Faaza olwawulidde nga bayita Kasiita ayogere n’abazinyi okuzina, yavudde mu mbeera ne yeeyambula ebyambalo. Wabula Karole Kasiita, yeetondedde Faaza n’addamu okukkalira mu ntebe ye ne bamuyisizaamu mu kiraamo ky’omugenzi. Kasita yayimbye oluyimba lwa ‘Ombadala’ ne Ritah Dancehall n’atema ddansi. oluvannyuma ne bagenda okuziika.

Tags: