EMMUNDU eyabula okuva ku mukuumi w'ekitongole ky'obwannannyini, bagisanze mu bisusunku by'ebijanjaalo mu nnimiro y'omutuuze e Kassanda, ng'ekwekeddwa. Emmundu
eyo ekika kya UG PSO 564211567/15036, yabula nga May 20.
Omwogezi wa poliiisi mu Wamala, Lameck Kigozi, yagambye nti, ezuuliddwa nnyini nnimiro, Salim Matovu ng'anonye ebisusunku. Yagisanze ezingiddwa mu mpale enzirugavu, n'atemya ku poliiisi.